• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Ekisaakate Kya Nnaabagereka 2025 kitongozeddwa, Asabye Essira liteekebwe ku Nnimi ennansi

Gambuuze by Gambuuze
August 7, 2024
in Amawulire
0 0
0
Ekisaakate Kya Nnaabagereka 2025 kitongozeddwa, Asabye Essira liteekebwe ku Nnimi ennansi
0
SHARES
137
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ronald Mukasa

Mmengo – Kyaddondo

Nnaabagereka Sylvia Nagginda Luswata atongozza Ekisaakaate kya Nnaabagereka 2025 ekigenda okuyindira ku ssomero lya St. Janan School era naasaba abazadde n’amasomero okuteeka essira ku nnimi ennansi kibayambe okwongera okutegeera ensonga.

Ekisaakaate kino kitongozeddwa leero ku Lwokusatu mu Bimuli bya Bulange e Mmengo era Nnaabagereka asinzidde wano neyeebaza aba Homesdalane olw’okuteekateeka Ekisaakaate 2024.

Nnaabagereka Sylvia Nagginda yennyamidde olw’amasomero okunnyikiza oluliiko oluzungu mu baana ne babeerabiza ennimi enzaaliranwa. Nnaabagereka asabye amasomero okukulembeza  ennimi  ezaffe zinaasangwa oluzungu ebeera nnyongereza kubanga n’abazungu a aleeta oluzungu kuno boogera nnimiro zaabwe

Ono ategeezezza nti ekisaakaate 2025 kyakuyamba nnyo mu kuzimba abaana abato okusingira ddala mu buntubulamu saako nokusaasaanya ebikwata ku Nnono zaffe n’obuwangwa ku muyungagano gwa yintanenti n’emikutu  emirala  okusobola okubimanyisa abalala.

Nnaabagereka yeebaziiza nnyo banna mukago abeesowoddeyo okubeera ekitundu mu nteekateeka y’ekisaakaate okukisobozesa okugenda mu maaso.

Ye  Minisita w’Ekikula ky’Abantu Cotildah Nakate kikomeko annyonnyodde  nti enteekateeka y’ekisaakaate yankizo nnyo mu lutabaalo lw’okuzza Buganda ku ntikko ngesimbira ddala mu nsonga ssemasonga ettaano, omuli okukuuma n’okutaasa Nnamulondo.

Owek. Kikomeko agasseeko nti Ekisaakaate kitambulira mu kulungamiza kwa Maasomoogi  okw’amatikkira ogw’omulundi ogwa 31 mweyakubiririza abantu be okukuuma n’okunyweza obumu.

Ssenkulu wa Nnaabagereka Foundation Andrew Adrian Mukiibi asinzidde ku mukolo guno nayanjula  omulamwa gw’Ekisaakaate 2025 nga kigenda kubeera wansi w “okukwanaganya Obuwangwa bwaffe  ne Tekinologiya”  kisobozese abavubuka okumanya n’okutegeera Obuvo n’Obuddo bwabwe.

Akulira kkampuni ya MTN, Sylvia Mulinge agamba nti Ekisaakaate kikoze nnyo nnyo mukunjula nokuteekateeka miti emito okubafuula abantu era abakulembeze ab’omugaso mu ggwanga bayambeko okukyuusa ensi.

 Omutandisi w’amasomero ga Janan era abagenda okuteekateeka Ekisaakaate 2025, Omuk. Michael Kironde yeebazizza Nnaabagereka olw’okubawa omukisa okuddamu okuteekateeka ekisaakaate nasuubiza nti bakusukkuluma bwe bakola mu mwaka gwa 2017.

Ono era yebaziiza banaabwe aba Homisdalene abateekateeka Ekisaakaate omwaka 2024 olw’okukola obulungi era nebawaayo obukadde bw’ensimbi 10 eri abaana abava mu maka amankuseere mu masaza ga Buganda nabo okufuna omukisa basobole okwetabamu.

Kinajjukirwa nti guno gugenda kubeera mulundi gwa 18 ng’Ekisaakaate kino kitegekebwa okuzza empisa n’ennono z’Obuntubulamu mu bantu era omulundi guno kigenda kuyindira ku ssomero lya Janan e Bombo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.