
Bya Ssemakula John
Fort Portal – Tooro
Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu n’ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki, asabye abakulembeze mu Bwakabaka okufuba okutuukiriza ekkatala lyabwe eri be bakulembera.
Bino Minisita Kawuki abyogeredde ku College of Health Sciences mu kibuga Fort Portal, mu lusisinkana n’abakulembeze wamu n’abantu ba Kabaka abawangaalira mu bitundu byeyo.
Owek. Kawuki abategeezezza nti engeri gyebanaatuukirizaamu obuvunaanyizibwa bwabwe yeneesalawo amaanyi gaabwe nga beteekako omuwendo, okutambulira mu kumanya nga bakozesa amagezi gaabwe obutawuliriza ngambo.
Ono abakuutidde okwongera okwolesa empisa n’obuntubulamu bw’Abaganda era baagale nnyo obuwangwa bwabwe ate basse ekitiibwa mu buwangwa bwabo abatali Baganda.
Ye Omwami we Ssaza Rwenzori, Oweek Samuel Ssempeebwa, yeebazizza omusomo ogubaweereddwa n’agamba nti bangi ku bantu baabwe ennono ezimu baali bazeerabira wabula kati bazze buggya.
Essaza lya Rwenzori ligenda kutongozebwa mu butongole olwa leero ku Lwokumaaga nga 03, August, 2024.









