• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Owek. Waggwa Nsibirwa alabudde Obuganda ku mikutu egimetta Obwakabaka enziro

Gambuuze by Gambuuze
August 1, 2024
in Amawulire
0 0
0
Owek. Waggwa Nsibirwa alabudde Obuganda ku mikutu egimetta Obwakabaka enziro
0
SHARES
111
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Bulange – Mmengo

Omumyuuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika w’Obwakabaka,  Owek.Robert  Waggwa Nsibirwa asabye Obuganda okuboola emikutu gya bannakigwanyizi abeefunyiridde okumetta Obwakabaka enziro  basobole okubunafuya.

Obubaka buno Owek. Nsibirwa okusaba kuno akukoledde Mmengo mu bimuli bya Bulange ku Lwokuna bw’abadde akiikiridde Katikkiro Charles Peter Mayiga okutikkula Oluwalo lwa bukadde 43 n’omusobyo okuva mu Bannakyaddondwa ne Bannabuweekula.

“Batambuza obulimba, omwezi gumu ebiri, oli nayogera kino nekiri nga talina wadde akayigo abantu webasobola okukyama naye amazima gamala negavaayo. Njagala okubasaba muleme kuggwamu maayi amazima weegali, amazima gava mbuga. Abalimba mubaboole, bwemubagamba nti mubaboole nga bongezzaamu ggiya naye tetukyatya kuba abantu baffe tulina okubamanyisa amazima,” Owek. Robert Waggwa Nsibirwa bw’ategeezezza.

Ono annyonnyodde nti bulijjo kyabulabe nnyo okulimba, okuvvoola era naabasaba banywerere ku nnambika ya Nnyinimu kubanga amazima bagamanyi era geeyolese.

Bano abakuutidde okunyweza obumu wadde ebintu bulijjo bajja kubeera nga babiraba bulala naye bawang’ane ekitiibwa basobole okubeera obumu olwo Buganda esobole okutambula obulungi.

Owek. Waggwa yeebazizza abazadde abeerekereza nebaweerera abaana era n’okubamanyisa ku buwangwa bwabwe kuba ayagala okumma eggwanga okulaakulana alimma byanjigiriza.

Abasabye okwettanira enteekateeka za Buganda nga bbasale, ebittavvu ebitereka ensimbi, emyoleso, okulima emmwaanyi, amalwaliro n’ebirala basobole okuyambibwa kuba emikisa gino Nnyinimu aziteerawo bantu be bakyuuse embeera zaabwe beegobeko obwavu.

Ye Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, Owek. Joseph Kawuki asabye ababadde bavvoola Obwakabaka mu butamanya beetonde era beekube mukifuba era akuutidde abantu ebiva embuga babiggye ku mikutu emitongole era beewale okusaasaanya n’okwongerayo ebitali bituufu.

Bbo abaami baamagombolola nga bakulembeddwamu Hajj Hakim Kayiza boogede kukusomozebwa kweekiba ttaka mu Buwekula nga abantu basula kutebuukye naasaba Obwakabaka okuyingira mu nsonga eno.

Ye Omugabe Luweekula Sempijja Andrew yeebazizza Obwakabaka olw’okutuusa enteekateeka ku bantu nga zino zibayambye okusobola okwegobako obwavu n’okwekulaakulanya.

Amaggombolola agakiise embugaokuva e e Buwekula kubaddeko Mumyuka Bageza, Musaale Kiyuni, Ssaabaddu Butologo, Ssaabawaali Maddudu, Mutuba I Kitenga, Ssaabagabo Kasambya awamu n’assomero ate Kyaddondo wavuddeyo Ssaabagabo Lufuka.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.