
Bya Francis Ndugwa ne Ronald Mukasa
Namirembe – Kyaddondo
Akasozi Namirembe kakwatiridde abantu ng’Obuganda bujjukira bwegiweze emyaka 31 bukya Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II atuuzibwa ku Nnamulondo okulamula abantu be.Weziweredde essaawa bbiri ez’okumakya ng’abantu ab’enjawulo batuuse dda mu lutikko ya St. Paul’s Cathedral okujjulira omukolo guno ogubadde wansi w’omulamwa ogugamba nti, ‘Obumu ge maanyi ga Nnamulondo.’
Bano kubaddeko Nnalinnya Lubuga Agnes Nabaloga, Nnalinnya Dorothy Nassolo,Nnalinnya Dina Kiga,Nnalinnya Sarah Kagere, Abalangira Crispin Jjunju, Richard Ssemakookiro, Katikkiro Charles Peter Mayiga n’omukyala Margret Mayiga,Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Abataka Abakulu ab’ Obusolya,bannaddiini, bannabyabufuzi okuli Hajati Minsa Kabanda, eyaliko omumyuka w’omukulembeze w’Eggwanga, Edward Kiwanuka Ssekandi Ababaka bba Palamenti nabalala bangi.Okusaba kuno kukuliddwamu Omulabirizi w’e Namirembe Moses Bbanja era ono yeyanzizza Ssaabasajja kabaka olw’okukumaakuma Obuganda nga atumbula obuweereza okuli obw’obulamu, ebyobulimi n’embeera z’abantu endala.

Omulabirizi Bbanja alaze obukulu bw’omulamwa gw’obumu nakakasa nti guno gwankizo nnyo mukulwanyisa abo abagala okusanyawo Obuganda n’okuvvoola Nnamulondo.Rt Rev. Bbanja alaze obwenyamivu olw’abantu abatyoboola ennono y’Obwakabaka bwa Buganda nga bayita mu mutimbagano kyagamba nti kikyamu era abakikola basaana okulaba nti beenenya olw’okunnyiza Empologoma n’okusiiwuka empisa.Ye Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda Rt Rev. Stephen Samuel Kaziimba yeebaziza Katonda asobozesezza Obuganda okujaguza Amatikkira g’omulundi guno nga Ssaabasajja Kabaka mwali munsiiye alamula abantu be.

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga bw’abadde ayogerako eri abantu abakung’aanye abasabye okubeera abagumiikiriza kuba Nnyinimu akyagoberera ebiragiro by’abasawo nga ajja kulabikako gyebali mu bwangu ddala nga ayongedde okutereera.Kamalabyona ategeezezza nti emyaka 31 nga Nnamuswa alamula Obuganda mulimu ebisomoozo ebizze bibeerawo okuviira ddala mukuzzaawo Obwakabaka, okulwanirira Federo n’okubanja Ebyaffe era abamu batuuse ku ddaala erivvoola Nnamulondo naye nakakasa nti singa abaganda babeera obumu bino byonna basobola okubivvuunuka.
Owek. Mayiga asinzidde wano naasekerera abaagala okusaanyawo Obwakabaka nakakasa nti basobola okubeera ebisomoozo Buganda byesisinkana naye tebasobola kugiwangula.Eyakiikiridde Ssaabaminisita Robinah Nabbanja ng’ono ye Minisita wa Kampala Hajati Minsa Kabanda asabye abantu okusabira Ssaabasajja era beewale okutyoboola Namulondo era basigale bumu nga bannnayuganda.

Oluvannyuma Omutanda asiimye naagabula Obuganda ne Kkeeki esaliddwa Nnaalinnya Agnes Nnabaloga, Omulangira Richard Ssemakookiro wamu n’abakungu abalala.Amatikkira g’omulundi guno gatambulidde ku mulamwa ogugamba nti Obumu bwaffe geemanyi ga Nnamulondo.









