
Bya Francis Ndugwa
Namirembe – Kyaddondo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga akuutidde Obuganda okunyweza obumu era balabuukirire abo bonna abaagala okunafuya Nnamulondo olwo bavvuunuke ebisomoozo era basobole okuzza Buganda ku ntikko.
Obubaka buno Katikkiro Mayiga abuweeredde ku Lutikko ya St. Paul’s Cathedral e Namirembe ku Lwokusatu mu kusaba kw’okujjukira bwegize emyaka 31 nga Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ali ku Nnamulondo alamula abantu be.
Owek. Mayiga agamba nti wadde Obuganda bulina ennyonta okulaba ku mutanda naye abantu basaanye okubeera abgumiikiriza n’okusoosowaza ensonga z’obulamu bwe nga bagoberera ebiragiro by’ abasawo era ajja kulabikira ku mikolo mu bwangu ddala nga ateredde.
Mayiga annyonnyodde nti mu myaka 31 gino mu baddemu okusomoozebwa okuviira ddala ku ku kuzzaawo Obwakabaka, okubanja Federo n’ebyaffe nga okutematema mu Buganda kijja kwongera okubunafuya n’okuvaamu ebizibu.
Owek. Mayiga ategeezezza nti walabiseewo abantu abaleeta enjatika mu Buganda n’okutyoboola ekitiibwa kyaayo naye ekyaddisaawo Obwakabaka n’okuvvunuka ebisomoozo bubadde bumu naasaba abantu okusigala obumu kuba mu ngeri eno mwebasobola okuyita okuwangula byonna ebibulumba.
Ono alaze obukulu bw’obumu mu Bwakabaka nakakasa nti okusobola okulaga kino Ebika byonna byakolebwa nga byenkanankana ssi nsonga kigwa mu Binnansangwa oba nedda wadde nga bino byawukanya obuvunaanyizibwa n’emirimu embuga.
Owek. Mayiga akoowodde Obuganda okutunula enkaliriza bulabuukirire abaagala okubatematemamu nga baagala okubanafuya era bumanye nti wadde wasobola okubaawo abayinza okututawaanya naye tebusobola kubuwangula.
Asabye abaganda okunyweza obumu era bafube okulaba nti buli kyebakola kyongera okugatta Buganda wakati nga baawula amabala mu myaka n’ekikula, endowooza z’ebyobufuzi oba eddiini naye basse ekitiibwa mu mbeera z’abantu abalala olwo Buganda edde ku ntikko.
Katikkiro Mayiga yeebazizza omulabirizi olw’obubaka wamu n’Amakula ga Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka.
Mu ngeri yeemu yeebazizza bannaddiini okuva mu nzikiriza ez’enjawulo olw’okujja okubeerawo ku mukolo guno.
Owek. Mayiga yeebazizza abantu ab’enjawulo abayambye mu nteeketeeka y’okujjukira Amatikkira gano wansi w’omulamwa ogugamba nti, ‘Obumu bwaffe gemaanyi ga Nnamulondo.’









