• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Mayiga aguddewo Olusirika lw’Abaami b’Amasaza, Abeebazizza olw’obuvumu bwebalaze

Gambuuze by Gambuuze
July 23, 2024
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Mayiga aguddewo Olusirika lw’Abaami b’Amasaza, Abeebazizza olw’obuvumu bwebalaze
0
SHARES
24
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Lubaga – Kyaddondo

Katikkiro Charles Peter Mayiga atendereza obuvumu Abaami bakabaka ku mitendera egyenjawulo bweboleseza wakati nga abalabe ba Buganda bagezaako okutyoboola Nnamulondo nga bwebeekwese mu kubanja Kabaka naabasaba okusigla ku mulamwa.

Bino  Kamalabyonna Mayiga abyogeredde ku wooteeri ya Pope Paul mu Ndeeba bw’abadde aggulawo olusirika lw’Abaami b’Amasaza ku Lwokubiri.

Ow’omumbuga abakulu bano abakubirizza obutasuula bwesigwa Ssaabasajja Kabaka bweyabateekamu era babukozese okukumaakuma abantu be n’ekigendererwa eky’okunyweza obuweereza bwabwe mu bantu ba Beene nga tebeerabidde kunnyikiza nteekateeka za Bwakabaka ez’enkulaakulana.

Owek. Mayiga asabye Abaami b’ Amasaza okukwasizaako abaamaggombolola nga bawanirira emirimu gyabwe nga bayita mu kubawabula n’okulungamya kulw’ obulungi bw’enzirukanya y’emirimu gy’Obwakabaka.

Bano abakuutidde okwefaako ku by’obulamu nga beekebeza endwadde, wamu n’okukuutira be bakulembera okutwala ensonga z’ebyobulamu ng’ekintu ekikulu.

 Kamalabyona asaasidde Obuganda olw’okuviibwako omwami wa Kabaka abadde omulammulirako essaza Bugerere, Mugerere James Ssempiga namwebaza olw’okuwereeza obwakabaka bwe wakati mukwagala.

Ono ayanirizza Abaami b’Amasaza abajja nabajjukiza obutasuula bwesigwa Ssaabasajja Kabaka bweyabasaamu era beewale okutunda eby’obugagga bya Kabaka.

Kamalabyona ateegezezza nti obukulembeze obubi busanyaawo amawanga nabakakasa nti Abaami bakabaka babeera mpagi luwaga mukuzZaawo obwakabaka nga bwebwali nga omuzungu tanabutaagulataagula.

Mukuumaddammula ategezeza nti bulijjo omukulembeze omulungi anoonya okumanya n’okuyiga era baami b’amasaza okwetanira ensirika nga zino basobole okufuna ebirowoozo eby’omugundu ebinatuusa Buganda kuntikko.

Minisita wa Gavumenti ezebitundu mu Buganda, Owek Joseph Kawuki ategezezza nti olusirika luno lugendereddwamu okumanyisa Abaami b’Amasaza  n’abamyuka babwe  obuvunaanyizibwa bwabwe.

Ssentebe w’olukiiko lw’ Abaami b’Amasaza Pookino Jude Muleke ategeezezza nti olusirika luno lwakubayamba nga Abaami b’Amasaza okumanya obuvunaanyizibwa bwabwe mu mukuwereeza abantu b’Omutanda.

Kinajjukirwa nti olusirika luno lwakuggalwawo omuwanika w’Obwakabaka era amyuka Katikkiro ow’okubiri, Owek Robert Waggwa Nsibirwa olunaku olw’enkya.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist