• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Obubaka bw’ abaana b’Eng’oma obwebaza ababeereddewo Beene

Gambuuze by Gambuuze
July 22, 2024
in Agafa e Mengo
0 0
0
Obubaka bw’ abaana b’Eng’oma obwebaza ababeereddewo Beene
0
SHARES
28
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Abaana b’Engoma baweerezza obubaka obwebaza abo bonna abababeereddewo mu kiseera Omutanda wabeeredde ebweru w’eggwanga nga afuna obujjanjabi.

Obubaka bwabwe busomeddwa Omulangira Crispin Jjunju Kiweewa eri bannamawulire nga Ssaabasajja Kabaka kyajje ekomewo mu nsi ye.

Bagambye bwe bati;

Twebaza Katonda olwokugolola omukono gwe oguwonya ku Ssaabasajja naamusobozesa okusuuka ekimala okudda mu Buganda olwa leero.

Twongera okuwonga Ssaabasajja mu mikono gya Katonda ayongere okussuuka nga ali wano mu Buganda.

Tukimanyi nti abantu ba Buganda, Uganda n’Ensi yonna babadde basabira Ssaabasajja era bamwagaliza obulamu obulungi. Tusiima nnyo essaala zino era Katonda essaala yaziwulidde era azaanukudde.

Twebaza tiimu y’abasawo n’abakozi ababdde bajjanjaba nokulabirira Ssaabasajja emyezi egiyise mu Germany, Switzerland ne Namibia, tusaba Katonda abawe empeera era tubeebaza okuviira ddala ku ntobo y’emitima gyaffe.

Eri Gavumenti n’abantu be Namibia abakyazizza Ssaabasajja ebbanga ery’emyezi esatu egiyise, tubeebaza nnyo nnyini obugeni n’obukuumi obumuweereddwa.

Namibia Nsi nnungi nnyo ewummuza era erimu emikisa eno yensonga lwa Ssaabasajja yasiima gyaba agenda okufuna obujjanjabi wamu nokuwummulako.

Kyannaku nnyo nti abantu abatono abeenoonyeza ebyabwe basasaanya engambo wamu nokukola ebintu ebivvoola n’ebivumaganya ensi ya Namibia. Abantu bano bamenya ennono yaffe ey’obuntubulamu. Ffe nga aboomunju twetondera Gavumenti ya Namibia olw’efujjo abantu bano abatono lyebaakola mu bugenderevu.

Twebaza nnyo Gavumenti ya Uganda naddala Minisitule y’ensonga z’ebweru olwebyo byekoze nga ekolagana wamu ne Gavumenti ya Namibia mu kiseera Ssaabasajja kyabadde mu Namibia.

Twebaza Katikkiro, Baminisita, Abaami n’abaweereza ba Gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka olwokutambuza emirimu gy’Obwakabaka nga Ssaabasajja taliiwo.

Mu ngeri ey’enjawulo twebaza abaweereza abadde ne Ssaabasajja ebbanga lyonna lyabadde ebweru w’eggwanga, emirimu gyammwe tugisiimidde ddala.

Ssaabasajja akomyewo mu Buganda naye akyali mu mikono gy’abasawo era akyetaaga obujjanjabi n’okuwummula okutuusa lwanasuukira ddala.

Ffe aba famile tujja kweyongera okuyambako n’okumukwatirako.

Tusaba abantu ba Buganda babeere bagumiikiriza era bongere okussa mu Ssaabasajja ekitiibwa n’okumulekera eddembe lye ery’obuntu mu kiseera kino”.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.