
Bya Ronald Mukasa
Mmengo Kyaddondo
Mu nsisinkano gy’abaddemu ne munnabitone Shamim Mayanja amanyiddwa enno nga Zubeda, Katikkiro wa Buganda ategeezeza nti ebitone ng’okuzannya katemba, omupiira, okubaka, n’ebiringa ebyo bye bimu ku bifuula omuntu ow’enjawulo ku balala, n’ategeeza nti okukozesa obulungi ekitone kireetawo okwongera ku nnyingiza ya nnyini kyo n’abalala mu biti eby’enjawulo okuli, Gavumenti, bannyini bifo ebisanyukirwamu, n’abakozi mu bifo ebyo.
Kamalabyonna ategeezeza nti ebitone ssi byakusanyusa busanyusa bantu naye bigyayo ensonga ey’obuyiiya obuviirako okutondawo emirimu eri abantu bangi
“Ebitone ssi ky’ekintu eky’okubalaatiramu, era amawanga agakuze, muno gafunamu omusolo mungi ddala”, Katikkiro Mayiga. Wano era ategeezeza nti Nnyinimu bw’ayagala abantu be okuzuula ebitone byabwe nga bakyalina emyaka emimpi era babikozesse okukyusa obulamu bwabwe n’Ensi mwe bawangalira.
Katikkiro yeebazizza abagenyi be olwa kaweefube waabwe ow’okusomesa abaana abawala ku nyambala, n’akinogaanya nti ennyamabala eyeesitaza terina ky’egatta ku muntu yenna okugyako okumutyobola.

Wano Kamalabyonna waasinzidde n’ategeeza ng’Eggwanga bwe lyagala abavubuka nga balamu n’akubiriza Shamim ne banne okutwala mu maaso kaweefube ono.Oweek. Mayiga abavubuka abakubiriza okukozesa obulungi omutimbagano n’ategeeza nti buli kyokolera ku mikutu gino kikulondoola ne mu biseera eby’omumaaso era asuubiza Muky. Mayanja ne banne nti waakugoberera kaweefube waabwe alabe ebibala ebinaamuvaamu.
Minisita w’Amawulire okukunga era omwogezi w’Obwakabaka Oweek. Israel Kazibwe Kitooke ku lwa Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone Oweek. Robert Serwanga alambuludde ku makulu ga bannabitone eri obulamu bw’abantu omuli okutondawo emirimu mwe baggya ensimbi ne yeebaza Shamim olw’okukozesa ekitone kye okuganyula abalala.
Omugenyi w’Embuga Shamim Mayanja amanyiddwa agamba nti kaweefube waabwe ono agandereddwamu okusomesa abaana naddala abawala n’abakyala ku nnyambala n’ekigendererwa eky’okutaasa ekifaananyi ky’Eggwanga lyonna okutwalira awamu saako n’okulwanyisa obutabanguko mu maka, Namayanja era asiimye Katikkiro olw’emirimu amatendo gy’akoledde Eggwanga n’asaba Obwakabaka okumukkiriza ne banne okubukwatirako mu kusomesa abantu ku mpisa ennungi.

Bano bategese ebikujjuko ku nyambala n’eneeyisa y’omwana omuwala n’omukyala nga 31 August e Lugogo Kyaddondo.
Ensisinkano eno yeetabiddwamu Minisita w’Olukiiko, Kabineeti n’Ensonga ez’enjawulo mu woofiisi ya Katikkiro Oweek. Noah Kiyimba n’abantu abalala bangi.









