• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Mayiga asisinkanye akulira Rotary mu ggwanga, asabye abantu okukuuma obutonde bwensi

Gambuuze by Gambuuze
July 18, 2024
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Mayiga asisinkanye akulira Rotary mu ggwanga, asabye abantu okukuuma obutonde bwensi
0
SHARES
25
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Shafic Miiro

Bulange – Mmengo

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asabye abantu okufaayo bakuume obutonde bw’ensi kiyambeko okutereeza ebiseera by’eggwanga eby’omu maaso okuva ku ddungu erisobola okubalumba.

Obubaka buno Owek. Mayiga abuwadde asisinkanye Gavana wa Rotary District 9213 Rotary,  Anne Nkutu n’abakulembeze ba Rotary mu Uganda ku mbuga e Mmengo ku Lwokuna bwebabadde bazze okumwanjulira enteekateeka y’okusimba ekibira kya Kabaka mu bifo eby’enjawulo n’emiramwa egyenjawulo gyebagenda okutambulirako, omuli n’okudduka emisinde gy’okulwanyisa kookolo (Rotary Cancer Run) nga 25 August.

Owek. Mayiga agamba nti emiti kitundu ku butondebwensi era obutondebwensi kye ky’obugagga ekisinga omuwendo Katonda kyeyawa Africa era singa kikozesebwa bulungi Africa esobola okuba engagga nokusinga amawanga amalala.

Ono alaze obwennyamivu olwa bamusiga nsimbi abazimba amakolero mu ntobazi, ate nga ensimbi bazirina ezisobola okugula ettaka ku lukalu. Bino bye bimu kwebyo ebisinga okukosa obutondebwensi nebutuuka nokusaanawo.

Bwatyo yeebazizza Rotary olwokutunuulira ebintu ebikosa obulamu bw’abantu nebabinogera eddagala.

Kulwa Ssentebe w’olukiiko olukwanaganya enteekateeka za Rotary mu Bwakabaka Oweek Ahmed Lwasa, obubaka bwe abuyisizza mu Owek Robert Waggwa Nsibirwa Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika w’Obwakabaka ate nga yaliko President wa Rotary mu Uganda, anokoddeyo nti mu bbanga lya myaka etaano basobodde okusimba ekibira ky’emiti e Buikwe ne mu bitundu era nga kati baakyuusa enkola, tebasimba busimbi miti wabula bajirima.

Gavana Anne Nkutu, ategeezezza nti bavaayo ne kaweefube wokusimba ekibira kya Kabaka oluvannyuma lwokukizuula nti obutondebwensi bwonooneddwa nnyo era n’embeera y’obudde ekyuukakyuuka yandiba nga ereetebbwawo ensonga y’okutyoboola entobazi, okutema emiti, n’ebiringa ebyo.

Omukwanaganya w’Obutondebwensi mu Bwakabaka, Teddy Nabakooza Galiwango, , annyonnyodde enteekateeka y’ekibira bwenaabeera nga mu kifo kino mwa kubeeramu emiti egya buli kika naddala egyo gi Nansangwa egivaako eddagala, ebyokulya, ebibala, era buli Kika kyakubaamu n’omuti gwakyo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist