
Bya Musasi Waffe
Bukuya – Ssingo
Omwami wa Kabaka akulembera essaza Ssingo, Mukwenda Deo Kagimu asabye abakulembeze b’Obwakabaka omuli Abaami b’Eggombolola n’Abatongole okubeera obumu okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe.
Mukwenda Kagimu agamba nti obumu bujja kubayamba okwongera okukola era bannyikize obukulembeze bwabwe era baganyule abantu ba Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka.
Obubaka buno abuweeredde Bukuya mu Ssingo Abaami bano bwebabadde balambikibwa ku nkola y’emirimu bwerina okutambula.
Ono annyonnyodde nti buvunaanyizibwa bwa baami bano okukakasa nti batuusa obuwereza eri abantu ba Kabaka ate nokubatusaako ebifa embuga mubutuufu bwabyo.
Mukwenda Kagimu bano era abanjulidde enteekateeka yOmulabba egendereddemu okuddaabiriza ennyumba enkulu ey’essaza emanyiddwa nga Matutuma esobole okutuukana n’ekitiibwa ky’essaza wamu n’Obwakabaka.
Owek. Kagimu era abalagidde okukakasa nti ebizimbe byObwakabaka ku mbuga yEggombolola bituukana nomulembe era bafube n’okukuuma ettaka ly’Obwakabaka eriri mu bitundu byabwe.
Abaami bano baweze okukolera nnyo ekisoboka okustitula embeera z’abantu ba Kabaka basobole okulaakulana n’okwegobako obwavu nga bayita mukujjubira enteekateeka z’Obwakabaka.
Mukwenda abadde nomumyuka Owokusatu Mwami Jjumba Stephen nabakiise ku Lukiiko lwEssaza Ssingo, ngOmukolo gubadde ku mbuga ya Mut V Bukuya.








