
Bya Ssemakula John
Lubiri – Mmengo
Ssaabalangira Godfrey Musanje Kikulwe asabye abavubuka ba Buganda okubeera abamalirivu okunyweeza n’okukuuma ekitiibwa kya Ssaabasajja Kabaka kwossa obutakkiriza bantu bafunvubidde okusaanyaawo Obwakabaka.
Obubaka buno, Ssaabalangira Musanje abuwadde atikkula abantu ba Beene abavudde mu ggombolola ya Mutuba V Kawempe Amakula ga Ssaabasajja Kabaka ku Lwokusatu mu Lubiri e Mmengo.
Kikulwe agambye nti abantu bateekwa okusoosowaza amawulire agatagendereddwaamu kuseeseetula nnono ya Buganda era beesambe abo abatambuza amawulire gonna ag’obulimba.
Ssaabalangira asomoozezza abantu okwewala okutambula n’abantu abaasalawo okusimbira ekkuuli amawulire agafa embuga kwossa ensonga za Ssaabasajja Kabaka kuba bano balina ebyabwe byebanoonya.
Eyakulembeddemu abaleese Amakula, Omumyuka wa Kaggo ow’okubiri Dr. Fiona Nakalinda Kalinda ajjukizza abavubuka okwongera okunyweeza olutalo olugoba Mukenenya kwossa endwadde endala mu ggwanga.
Katikkiro w’ebyalo bya Kabaka omukungu Luutu Moses asabye abantu okwongera okussa mu nkola ebintu byonna ebibalambikibwa okutumbula ekitiibwa kya Buganda.
Ye Avunaanyizibwa ku Lubiri lwa Kabaka, Omuk. Ssewava Robert ajjukizza Obuganda okujjumbira okukola ennyo okusobola okwebezaawo kibataase okuwankawanka.









