
Bya Shafic Miiro
Abakungu okuva mu kitongole ekivunanyizibwa ku by’obulambuzi mu Ggwanga nga bakulemeddwamu Omuk. Pearl Hoareau Kakooza Ssentebe wa Bboodi y’ekitongole kya ‘Uganda Tourism Board’ balambuziddwa ebimu ku bifo eby’enkizo mu Buganda.
Bano balambuziddwa Amasiro g’e Kasubi, Olubiri lw’e Mmengo, Ennyanja ya Kabaka, ekizimbe Bulange ewatuula olukiiko lwa Buganda, n’ekifo eky’ebyobulambuzi n’ennono kati ewateekebwateekebwa okuteeka ekkaddiyizo lya Buganda.

Okulambuzibwa kukulembeddwamu Omuk. Albert Kasozi, Ssenkulu w’ekitongole ky’ebyennono n’Obulambuzi mu Buganda era abagenyi bano okuva mu ‘Uganda Tourism Board’ oluvannyuma bagabuddwa eky’emisana ekiteekeddwateekeddwa mu nfumba y’Omuganda, era kibaddeko emmere eŋŋanda, empombo, omubisi n’omwenge ebisogole n’ebirala.
Ssentebe wa bboodi ya UTB, Pearl Hoareau Kakooza, asiimye nnyo engeri Obuwangwa n’Ennono bya Buganda gye bikuumibwamu era agamba nti Buganda kyakulabirako kya maanyi eri ebitundu ebirala mu Uganda.










