
Bya Ronald Mukasa
Mmengo – Kyaddondo
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye Abaami ba Kabaka yonna gyebali okuyambako okulambika abantu ba Kabaka basobole okusigala nga bali bumu.
Obubaka buno Kamalabyonna Mayiga abutisse Ssaabawolereza Owek. Christopher Bwanika bw’abadde amukiikiridde ku mukolo gw’okutikkula Bannagomba, Ssingo ne Bannabutambula oluwalo mu Bulange ku Lwokuna.
Mu babaka buno Katikkiro Mayiga ategeezezza nti singa bano bayamba okunyweza obumu mu bantu ba Kabaka olwo Obwakabaka bujja kusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwo.

Mukuumaddamula abeebazizza olwengeri gyebatambuza emirimu gyabwe naabasaba okukubiriza abantu mubitundu byabwe okwongera okwettanira enteekateeka za Beene.
Ono era akubirizza abagoba b’ ebidduka naddala abasaabaza abantu mu mipiira gy’amasaza okugoberera amateeka g’ebyenguudo bwatyo nasaasira ab’enganda zaabo abafiira mu kabenje nga bava e Gomba okuwagira omupiira.
Ku lulwe, Owek Bwanika akunze Abaami ba Kabaka mu ggombolola n’Amasaza gonna okufaayo okukuuma ebiwandiiko era bafube okwebuuza ku nsonga zonna ezikwata ku ttaka era beewale okwetaba mu mivuyo gy’ettaka gyonna.
Owek. Bwanika abantu abasabye okwanganga abantu abavoola Nnamulondo era bayambeko okubunyisa ebituufu ebiva embuga ssaako n’okunyweza ensonga ssemasonga ettaano.
Ono alabudde abavubuka ku nkozesa embi eyo mitimbagano nabasaba okwegendereza obubaka bwebawuliriza okusobola okwewala okuwubisibwa abagala ebyonoonesse.
Akiikiridde Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, Owek. Israel Kazibwe Kitooke yeebazizza abantu be Gomba olw’okubeera abajjumbize eri enteekateeka z’Obwakabaka ezireetebwa okutumbula embeera zabwe.
Owek. Kazibwe Abaami abaggya ab’eggombolola nemiruka abasabye okukola obulungi emirimu gyabwe era baweese Nnyinimu ekitiibwa gyebawangalira.
Omwami wa Kabaka atwala essaza Gomba, Kitunzi Mugabi Fred Williams akubiriza Obuganda bwonna okunyweza obumu mu buli nsonga , naabasaba okusinganamu ekitiibwa, n’okugumikirizigana olwo bwetunaasobola okuza Buganda kuntiko.
Oluwalo oluleeteddwa lubalirirwamu obukadde obusoba mu 54 (56,976,300) nga eggombolola ezisoba mu mukaaga zezikiise embuga nga muzino eggombolola ya Ssaabagabo Kabulasokke yenywedde mundala akendo n’oluwalo lwa bukadde 15,370,000 neddirirwa Ssaabawali Kyegonza n’obukadde 8,494,300









