
Bya Ronald Mukasa
Nabweru – Kyaddondo
Kamalabyonna Charles Pater Mayiga asabye abakulembeze okubeera abayiiya olwo bebakulembera basobole okubalabamu omugaso gw’obukulembeze.
Entanda eno Owek. Mayiga agibaweeredde ku kisaawe ky’eggombolola ya Mutuba II Nabweru mu Kyaddondo bw’abadde aggalawo omwoleso ku Lwokuna wansi w’omulamwa, ‘Nabweru ku ntikko’.
Katikkiro Mayiga ategeezezza nti obukulembeze bwetaaga obuyiiya, obujagujagu, obuvumu, n’obuteenyooma okusobola okubaako ebintu ebigguka ku mitendera egy’enjawulo.
Ono awadde eky’okulabirako ekya Gavumenti ya Kabaka gyakulembera nti singa baalinda obuyambi nebatakozesa buyiiya tebandisobodde kuzimba Bbugwe ku Masiro, okutandikawo BBS Terefayina, n’ebitongole eby’enjawulo.
Ow’omumbuga era asabye abakulembeze mu ma ggombolola g’ obwakabaka amalala okulabira ku kikoleddwa e Nabweru nabo babeeko byebatandikawo okusobola okutumbula embeera za bantu n’okulaakulanya Obwakabaka.

Owek. Mayiga asaasidde abasendeddwa amayumba gaabwe mu Lubigi kyoka nasaba ekitongole ki NEMA okukola omulimu gwabwe bulungi nga bakugira abantu okubaako kyebankolela mu ntobazi so ssi kubalinda nga bamaze okukolerako emirimu nebagyonoona.
Ye Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, Okulambula kwa Kabaka n’ensonga za Buganda Ebweru, Owek Joseph Kawuki yeebazizza nnyo omwami w’eggombolola ya Mutuba II e Nabweru, Owek. Mariam Ndagire olw’okubeera omuyiiya nga agoberera enambika z’obwakabaka saako nokuleeta abaana abato mu mwoleso guno.

Omwami wa Beene akulembera Kyaddondo, Kaggo Hajji Ahmed Magandaazi Matovu akuutidde abolesezza okugumiikiriza emirimu gyabwe nga beewala okugiryamu amangu ekiyinza okugiviirako okuzing’ama.
Omukolo guno gwetabiddwako abakulembeze mubitti ebyenjawulo banna byabusubuuzi abaana ba masomero n’abantu abalala bangi.









