• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Owek. Kaawaase agumizza Obuganda ku mbeera ya Beene

Gambuuze by Gambuuze
June 18, 2024
in Agafa e Mengo
0 0
0
Owek. Kaawaase agumizza Obuganda ku mbeera ya Beene
0
SHARES
57
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ronald Mukasa

Mmengo – Kyaddondo   

Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo agumizza Obuganda  ku mbeera ya Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka nategeeza nti wadde mukosefu naye emirimu gitambula kinawadda.

Obubaka buno Owek. Kaawaase akukoledde mu Bulange e Mmengo bw’abadde akiikiridde Kamalabyonna Charles Peter Mayiga  okutikkula Bannasingo ne Bannakyaggwe Oluwalo olusobye mu bukadde 35 ku Lwokubiri.

“Kituufu Ssaabasajja Kabaka mukosefumu naye ali mu mikono emituufu egy’ abasawo. Mwe abazze wano abantu ba Ssaabasajja Kabaka mubagumye nti ebintu bitambula wadde ebisomoozo bibaawo,” Owek. Kaawaase bw’agambye.

Ono ategeezezza nti obwavu, endwadde, amalwaliro omutali ddagala, ebyenjigiriza ebiri ku buseera ne bannabyabufuzi abeeyagaliza bokka wadde omugugu abantu basooka gutunuuliza Gavumenti eyawakati naye bwebamala amaaso bagazza ku Buganda.

Bwekityo asabye abakulembeze bulijjo okukwasizaako Omutanda  ku nteekateeka za Buganda nga Emmwaanyi Terimba ezigendereddwamu okulaakulanya abantu be n’okusitula embeera zabwe.

Bannabyabufuzi abakubye akaama okwewala okwawulwa langi n’enzikiriza ez’enjawulo naye babeere bumu okulaba nti batwala Obwakabaka bwa Buganda mu maaso.

 Ku lulwe Owek. Kigongo  yeebazizza nnyo abazadde ne bananyini masomero olw’okuleeta abaana okukiika embuga, nakunga abaana okunyweza obuwangwa n’ ennono  zabwe okusobola okutangaaza emikisa gyabwe egy’omu maaso.

Owek. Kaawaase era akunze  bannannyini masomero okwagazisa abaana okwegatta mu bibiina by’Obwakabaka nga Akaliba Akendo Nkoba zambogo nebirala okusobola okubateekateeka obulungi.

Ye Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu n’Okulambula kwa Kabaka n’ Ensonga za Buganda Ebweru, Owek Joseph Kawuki yeebazizza nnyo Banna Ssingo ne Bannakyagwe olw’okukiika embuga basobole okumanya ebituufu ebikwata ku Bwakabaka ne Beene.

Omumyuka Ow’okubiri owa  Mukwenda,

Regina Nasseremba yebazizza Katikkiro olw’obukulembeze obulungi saako nokukiriza buli ssaza okujja nga bweriri embuga kugamba kibayambye nnyo okwenyigira buteerevu mu nsonga z’embuga.

Ensisinkano eno yetabiddwamu abantu abenjawulo okuli ababaka mulukiiko lw’eggwanga olukulu, ba ssentebe bamagombolola, banna diini, abaana b’amasomero nabantu abalala bangi.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist