
Bya Ronald Mukasa
Bulemeezi – Kasana
Minisita w’Amawulire, n’ Okukunga Abantu era omwogezi w’ Obwakabaka, Owek Israel Kazibwe Kitooke abantu bulijjo okusooka okukola okunoonyereza ku bintu byebakola okusobola okumanya bwebayinza okuyita mwebyo ebiyinza okubasomooza.
Okusaba kuno Minisita Kitooke akukoledde Bulemeezi mu Balyannaka bw’abadde aggalawo omwoleso gw’Ebyobulimi n’Obwegassi ogumaze ennaku 4 nnamba.
Owek. Kazibwe ategeezezza nti okunoonyereza kukulu nnyo mu mirimu nga okulima, okulunda, okusuubula, n’emirimu emirala kuba kiyamba oyo ayagala okugutandika okulengera ewala nalemwa okufiirizibwa.
Minisita Kazibwe asabye abantu ba Kabaka okwettanira emisomo gyébyobulimi, Obulunzi nÓbweegassi kibayambe okugaziya ku ndowooza yabwe olwo bagobe obwavu era Buganda edde ku ntikko.
Ono era abakunze okwettanira okulima emmwaanyi nga bakozesa ebifo ebitono byebalina kuba ziriko akasente kebasobola okutereka singa beewala okulya ekivubi amagoba gebabeera bafunye.
Owek. Kazibwe era abawadde entanda bulijjo okwerekereza baweerere abaana babwe okusobola okubawa ebiseera by’omu maaso ebitangaavu.
Ye Omwami wa Beene ow’essaza Bulemeezi, Kkangaawo Ronald Mulondo yeeyanzizza Beene olw’okusiima omwoleso guno negutegekebwa mu ssaza lino, nategeeza nga bwegulina kyegwongedde ku Balemeezi.
Kkangaawo Mulondo asabye bannabulemeezi okufuba okuteeka mu nkola ebyo byebayize basobole okukyuusa obulamu bwabwe.

Ye Omubaka wa Pulezidenti mu disitulikiti ye Luwero, Richard Bwabye Ntulume kulwa gavumenti eya wakati asabye abantu abazze mu mwoleso okukozesa amagezi gebafunye okwekulakulanya, nga bakozesa ensimbi za Parish Development Model gavumenti zeebawa.
Omwoleso guno gwetabiddwaamu ebibiina byÓbwegassi mu Bwakabaka ebikulembeddwaamu CBS PEWOSA Eyeeterekera SACCO, Ssuubiryo Zambogo SACCO, omukago ogutwaala Obwegassi ogwa Uganda Cooperative Alliance, ebitongole byÓbwakabaka omuli ekyÉbyobulimi ki BUCADEF, ne bannamukago abalala bangi.









