• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Muteesa 1 Royal University ekwasiddwa Charter, Kamalabyonna yeebazizza abagiyambye  ku buwanguzi buno

Gambuuze by Gambuuze
June 12, 2024
in Amawulire
0 0
0
Muteesa 1 Royal University ekwasiddwa Charter, Kamalabyonna yeebazizza abagiyambye  ku buwanguzi buno
0
SHARES
31
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ronald Mukasa

Kirumba – Masaka

Abantu ab’enjawulo beeyiye ku Ssettendekero wa Muteesa I Royal  University okwetaba ku mukolo gw’okukwasa abagikulira ‘Charter’ egikakasa okukola emirimu mu kisaawe ky’ebyenjigiriza  mu butongole.

Omukolo guno guyindidde ku kitebe kya Ssettendekero e Kirumba Masaka mu Buddu ku Lwokusatu era wano Kamala byonna Charles Peter Mayiga waasinzidde neyeebaza bonna abayambyeko okuwangula olutalo luno.

” Twebaza Ssaabasajja Ronald Mutebi II olw’okukuuma omumuli gwa Jjajja we Muteesa I nga gwaka naddala mu byenjigiriza. Nneebaza ba Katikkiro abankulembera naddala Oweek. Joseph Mulwanyamuli Ssemogerere, kubanga ku mulembe gwe, ekirowoozo ky’okutandikawo Ssetendekero eno kwe kyatandikira, era nneebaza buli muntu alina ky’akoze okutuusa Muteesa I Royal University ku kkula lino,” Owek. Mayiga bw’ategeezezza.

Mukuumaddamula annyonnyodde nti ekigendererwa ekisooka ekya Ssettendekero ono kwekukwasizaako gavumenti mu lugendo lw’okutuusa ebyenjigiriza ku babyetaaga.

Katikkiro Mayiga yeebazizza Katikkiro eyawummula Mulwanyamuli Ssemwogerere kubanga ekirowoozo kino kyatandikira ku mulembe gwe.

Owek. Mayiga era mu ngeri eyenjawulo atenderezza  baminisita neba Cansala ba Ssettendekero ono abasooka olw’okusima omusingi ogugiyambye okuyitimuka netuuka ku kkula lino.

Akunze abazadde okwongera okuwaayo abaana kuba olwa ‘Charter’ eno kati abayizi balina emikisa egy’enjawulo omuli n’abayizi nga basomera ku looni za gavumenti.

 Owek. Mayiga yeebazizza  aba National Council for Higher Education ne Minisitule y’ebyenjigiriza mu Gavumenti ya wakati olwa ‘Charter’ eno, nategeeza nti ssettendekero kintu kikulu nnyo kubanga obuwanguzi bwayo buli mu mutindo gw’ebisomesebwa.

 Akiikiridde aba National Council for Higher Education Dr Vincent Aloysius Ssembatya agamba nti omwaka guno Ssettendekero ssatu zezifunye ‘Charter’ bwatyo nayoozayoza Muteesa 1 olw’ekkula lino.Amyuka Cansala wa Muteesa I Royal University

Ye amyuka Cansala wa  Ssettendekero ono  Prof Vincent Kakembo  yeebazizza abo bonna ababayambyeko  okulaba nga ssettendekero ono afuna Charter.

Minisita w’Obwakabaka ow’ebyenjigiriza, Owek. Cotilda Nakate Kikomeko yeeyamye okwongera okulondoola ebiyigirizibwa ku Muteesa okusobola okukakasa nti ebyo byebaweereddwa olukusa okusomesa bibeera eby’omutindo ddala.

Ssentebe w’Olukiiko olukulembera Muteesa I, Dr. Gorret Nakabugo yeebazizza Kamalabyonna Charles Peter Mayiga kuba olugendo luno lututte ebbanga eriwera nga tewali bibala birabwako naye olw’okulemerako kwa Mukuumaddamula baasobodde okumalako.

Omukolo guno gwetabiddwako abantu mu biti ebyenjawulo omuli bannabyanjigriza, abaliko abayizi n’abayizi kussetendekero ono.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.