Bya Ronald Mukasa
Masaka – Buddu
Abalimi b’ Emmwaanyi e Buddu basattira olw’obubbi obususse mukitundu kino nga kati ababbi batuuse n’okusula mu misiri nga bakuuma emmwaanyi zaabwe okuzitaasa ku bakyalakimpadde.
Abamu ku bano kino bakitadde ku bbeeyi y’Emmwaanyi eyongedde okulinnya nekireetera ababbi okwagala okwefunira ensimbi ezamangu.
Ssentebe wa Kibinge Coffee Farmers Cooperative Society e Bukomansimbi, Sowedi Sserwadda, asabye abakulembeze okubaga amateeka agalungamya okutunda oba okugula emmwaAnyi mu kitundu kino nga bweguli mu disitulikiti ye Kassanda bakomye okuzitunda ku maliri oba mukiro.
Okusinziira ku John Byabashaija omulimi w’emmwaanyi e Ssembabule batandise okupangise kampuni ezigaba obukuumi okukuuma emisiri gyabwe so nga abalala baasalawo okuzeetwaliramu.
Abalimira mu Disitulikiti ye Kyotera bbo bagamba nti beekozeemu omulimu nga kati bakuuma mu mpalo okusobola okwang’anga ekizibu kino.
Kati bano basazeewo buli muntu gwebasanga nekitereke ky’emmwaanyi mu kiro ba mukwasa poliisi okusobola okunoonyereza gyaba aziggye n’ensonga lwaki azitambuza kiro.
Bino webijjidde nga obungi bw’emmwaanyi Uganda bwetunda ku katale k’ensi yonna bweyongedde ekiyambye abantu okwegobako obwavu nga ebitundu 50 ku buli 100 ziva mu Buganda.