
Bya Shafik Miiro
Kibuli – Kyaddondo.
“Tetusobola kwerabira bukyayi n’ekko ebyakolebwa ku bantu ba Buganda, era bangi ne bafiiramu, naye kakaati Obwakabaka bwakomawo era ebiseera eby’okwekubagiza byakoma. Tulina okulwana okuzzaawo n’okunyweza ekitiibwa kya Buganda” Katikkiro Mayiga.
Mu 1966, Buganda yasanga akaseera akazibu eyaliko omukulembeze w’Eggwanga lino Apollo Milton Obote bwe yalagira amaggye okulumba Olubiri lw’e Mengo n’ekigendererwa eky’okutuusa obulabe ku Ssekabaka Muteesa II era yawonera watono okuttibwa mu Lubiri.

We lutuukidde olwaleero nga Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alina emyaka 69 era ng’anatera okuweza emyaka 31 ku Nnamulondo ya Buganda oluvannyuma lw’okuzza Obwakabaka mu 1993, n’atikkirwa e Naggalabi, Buddo nga 31/07/1993.
Obwakabaka bujjukidde olunaku luno era obubaka bwa Katikkiro ku nsonga eno busomeddwa Omumyuka we Asooka Oweek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo mu Muzikiti e Kibuli oluvannyuma lw’okusaala esswala ya Juma.

Oweek. Mayiga ategeezeza nti abantu ba Kabaka bali Bumu era bakoze nnyo okulaba nga Buganda edda ku ntikko nga beenyigira mu nteekateeka za Ssaabasajja, zaagambye nti zijjumbiddwa mu bibuga ne byalo n’ekigendererwa eky’okusitula embeera y’obulamu bwe balimi, bwatyo ayongedde okubakubiriza obuteekubgiza.
Kamalabyonna wa Buganda era akoowodde Gavumenti okuddiza Buganda ebintu ebikyasigalidde, ng’agamba nti byaginyagibwako era okubizza kiba kukola kyoleka bwenkanya. Bwatyo yeebaziza obukulembeze bw’omuzikiti gw’e Kibuli olw’okukkiriza okusabira Obuganda n’Obwakabaka ku lunaku luno.

Sheikh Yusuf Mutimba, yaasomesezza mu Juma eno era akubirizza abaddu ba Allah okuyambanga bannaabwe abali mu bwetaavu bulijjo olwo Allah nabo ajja kubamalira mu bwetaavu bwabwe. Ayongeddeko nti; Omubaka Muhammad, yasomesa n’agamba nti oyo aliyamba omulala n’amuggyako ennaku, Allah amusasula na kumwanguyiza bulamu bwa dduniya n’obwenkomerero.
Okusaala Juma eno e Kibuli kwetabiddwamu Jjajja w’Obusiraamu mu Uganda Omulangira Kasim Nakibinge, Supreme Mufti Sheikh Muhammad Galabuzi, Oweek. Ahmed Lwasa nga ye mumyuka w’Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Oweek. Hajj Amiisi Kakomo, Abalangira, Abambejja n’abantu abalala bangi ddala.










