
Bya Ssemakula John
Bbowa
Ttiimu ya Bulemeezi eyanjudde abatendesi abaggya mu kaweefube w’okulaba nti esobola okuddamu okuwangula ekikopo ky’omupiira gw’Amasaza ga Buganda ekya 2024 n’okunyweza obuwagizi bwaayo mu bantu.
Abatendesi bano banjuddwa Omumyuka wa Kkangaawo Asooka, Omw.David Lule Muzzanganda ku mbuga y’essaza e Bbowa ku Lwokusatu.
Nkata Paul yalondeddwa okubeera omutendesi omukulu, Wasswa Geoffrey ye mumyuka we asooka, Kiggundu Ali muyambi wakubiri ne Semakula Edison Maggulu wakusatu.
Abalala kuliko Bakabulindi Kirumira Adam, Okello Maxwell ne Elungat Martin ow’ abakwasi ba Ggoolo.
Bulemeezi yeyawangula ekikopo ky’omwaka oguwedde 2023 oluvannyuma lw’okuwangula Gomba ggoolo 1-0 ate Mawokota nekwata eky’okusatu oluvannyuma lw’okukuba Buddu ggoolo 3- 0 mu kisaawe e Wankulukuku.









