• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro atongozza bboodi empya ey’ekitongole ky’ebyobulambuzi, abasabye okutereeza enzirukanya y’ekitongole kino

Gambuuze by Gambuuze
May 8, 2024
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro atongozza bboodi empya ey’ekitongole ky’ebyobulambuzi, abasabye okutereeza enzirukanya y’ekitongole kino
0
SHARES
36
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Stephen Kulubasi

Bulange – Mengo

Katikkiro Charles Peter Mayiga atongozza bboodi y’ekitongole ky’ebyobulambuzi mu Bwakabaka  ki Buganda Heritage and  Tourism Board (BHTB) okwongera okutumbula emirimu gy’Ebyobulambuzi naabasaba okufaayo ku nzirukanya y’emirimu bulijjo.

Bboodi eno Kamalabyonna agitongolezza ku mbuga enkulu e Bulange e Mmengo ku Lwokusatu  nga kati olukiiko olupya lugenda kutulwako abantu 12 balamba nga lwakulirwa Omuk. Benon Ntambi.

Bw’abadde abakwasa obuvunaanyizibwa , Mukuumaddamula abakalaatidde okuteeka amaanyi gabwe ku bintu ebikulu bina (4 ) ng’ekisooka kwekutereeza enzirukanya y’ekitongole kino kiddukanyizibwe mu ngeri ey’ekikugu emirimu gitambule bukwakku.

Kuno kwaggase okutondawo enkola  enaasikiriza abalambuzi eggwanika lya Beene liyingize ensimbi,  bakole buli kimu okuzimba Ekkaddiyizo ly’Obwakabaka mu bwangu ddala era batereeze ne Wankaaki wa Twekobe kubanga embeera mwali tesanyusa so nga abagenyi wano webatuukira.

Ow’omumbuga era asabye aba bboodi empya  okubeera abayiiya n’okukola obutaweera okulaba ng’ekitongole kino tekibeera bubeezi na linnya wabula kituukirize emirimu egigasa Obwakabaka n’abakozi baakyo olwo kikulaakulane.

Owek. Mayiga bano abategeezezzza nti bboodi nkulu nnyo kuba yeelaga engeri emirimu gyegitambulamu.

Ono annyonnyodde nti  Buganda erina enkizo ku nsi endala mu nsonga z’ebyobulambuzi naddala ebyafaayo  ebikwata ku Buganda kuba bino si byakupangirira kuba buli kimu kirambulukufu.

Alambuludde nti Buganda okusobola okufuna ekimala mu by’obulambuzi  birina kuteekebwateekebwa bulungi bwatyo  neyeebaza bboodi enkadde olw’omulimu ogukoleddwa.

Minisita w’ebyobulambuzi mu Bwakabaka, Owek. Anthony Wamala yeebazizza omulimu ogukoleddwa bboodi enkadde era neyeeyama okukolagana obulungi n’olukiiko oluggya.

 Ye Ssentebe wa bboodi empya  era nga yabaddeko, Omuk. Benon Ntambi kulwa banne  aweze okuweereze Kabaka awatali kwebalira wadde okwekwasa nsonga yonna.

 Omuk. Ntambi asuubizza okubaga amakubo aganavaamu ssente, naasaba bakwasibwe Amasiro gatandike okulambulwa abantu.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist