• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Eby'Obulamu

Obwakabaka ne Minisitule y’Ebyobulamu bakulwanyisa omusujja gw’Ensiri, Owek. Kaawaase asabye abantu okugwegemesa

Gambuuze by Gambuuze
April 29, 2024
in Eby'Obulamu
0 0
0
Obwakabaka ne Minisitule y’Ebyobulamu bakulwanyisa omusujja gw’Ensiri, Owek. Kaawaase asabye abantu okugwegemesa
0
SHARES
37
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ronald Mukasa

Bulange Mmengo

Obwakabaka bwa Buganda buweze okwongera  okukwatagana ne Minisitule y’Ebyobulamu mu Gavumenti Eyawakati okusobola okulwanyisa omusujja gw’ensiri mu Buganda ne Uganda bannansi basobole okulaakulana.

Okuwera kuno kukoleddwa  Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Owek, Prof. Twaha Kigongo Kaawaase n’abakungu ba Minisitule bwebabadde basisinkanye abavuzi ba Boodabooda okubabangula ku kirwadde kino mu Bulange e Mmengo ku Mmande.

“Bwotafa musujja, gusobola okukulemaza obwongo, okulwaza ekibumba, Ensigo oba okunafuya obutafaali bw’omubiri nabwekityo bulijjo genda muddwaliro okeberebwe ngofunye obubonero bwomusujja guno obutasukka ssaawa 24,” Owek. Kaawaase bw’ategeezezza aba Booda Booda.

Kawaase akunze abantu mu Buganda n’eggwanga lyonna okukozesa obulungi obutimba bw’ensiri okusobala okulwanyisa obulwadde buno.

Prof. Kigongo era yeebazizza Minisitule y’Ebyobulamu okuva mu gavumenti eyawakati olwokukolagana obulungi n’Obwakabaka mukawefuube w’okumalawo omusujja guno.

Hajji Kawaase era asanyukidde ekya bagoba ba bodaboda okwenyigira buterevu mukulwanyisa omusujja gw’ensiri kyoka naabasaba okugoberera amateeka g’oku nguudo okusobola okukendeeza ku bubenje obuviriddeko bangi okufa nabalala okufuna obulemu.

Owek Hajji Kawaase agamba nti Uganda okubeera nnamba 3 mu nsi ezisingamu omusujja gw’ensiri nga walina okubaawo ekikolebwa mu bwangu okutaasa embeera eno.

Ono era akubirizza abantu okwettanira okusimba ebimera ebigoba  ensiri  saako nokunyokeza akabaani munju zabwe biyambeko okukendeeza ku kirwadde kino.

Ono yeeyamye okwongera amaanyi mukulwanyisa omusujja gw’ensiri saako nokukunga abantu mu Bwakabaka okugenda okwegemesa endwadde eno nga  gavumenti etandise kaweefube ono.

Kulwa Minisitule y’Ebyobulamu, Dr Daniel Kyabayinze ng’ono omuwandiisi Omuteesiteesi omukulu owa minisitule y’ebyobulamu Dr Dianah Atwine agamba nti yadde bataddewo  enteekateeka ezenjawulo okulwanyisa omusujja gw’ensiri kyokka tewanabaawo kyamanyi kituukiddwako mu kawefube ono.

Kyabayinze agamba mukiseera kino omusujja guno guli waggulu naddala mu Buganda nga abantu abali eyo mu 6000 beebafa buli mwaka omusuJja gw’ensiri nga be bantu 14 abafa buli lunaku.

Ono asinzidde wano nalambulula ku nteekateeka z’okugema bannansi omusujja gwensiri nga bakutandika nebintu ebisinga okukosebwa omusujja guno mu mwezi gw’e 11 . Enteekateeka eno yakutandika n’abaana abato olw’eddagala erikyali ettono n’oluvannyuma bageme abantu abakulu.

 Bbo abagoba ba Booda Booda beeyamye okuteeka mu nkola kawefube ono nga bamanyisa abantu bebaasaabaza obwetaavu obuli mukulwanyisa nokumalirawo ddala obulwadde buno .

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.