• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Mayiga alambudde abalimi b’Emmwaanyi mu Butambala, akuutidde abantu obutadduka mu byalo

Gambuuze by Gambuuze
April 23, 2024
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Mayiga alambudde abalimi b’Emmwaanyi mu Butambala, akuutidde abantu obutadduka mu byalo
0
SHARES
89
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Kabula – Butambala

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asabye abantu obutadduka mu byalo nga beeyunira okugenda mu bibuga naye babeeko byebakolera mu byalo ebikyuusa obulamu bwabwe basobole okulaakulana.

Obubaka buno Katikkiro Mayiga  abuweeredde ku kyalo Kabula  mu Butambala ew’Omulimi w’Emmwanyi, Ssentongo John Kyamaanyi mu nteekateeka ya Mmwanyi Terimba ku Lwokubiri.

“Tulina endowooza nti ebirungi biri mu kibuga era abantu bangi  bakadde babwe bwebabawa ettaka oluusi nga bakyali balamu nga balitunda nga beeyunira ekibuga, abalala babalinda kufa nebalitunda. Ekyamazima mu kibuga ebirungi gyebiri naye nemu kyalo, kisinziira ggwe kyosazeewo okukozesa ettaka eryo kitaawo lyaba akuwadde,” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza.

Owek. Mayiga asabye abalimi b’ emmwaanyi  okukyusa obulamu  bubeere bulungi  wadde nga bali mu kyalo era bakole ebyo ebyandyegombesezza abalala okuddukira ku kibuga.

Abakuutidde okwongera okulima emmwaanyi era bakyuuse endaba y’ebintu nga bagula ebyuma eby’omulembe ebisobola okulima n’okufukirira  banguyirwe omulimu.

Era Mayiga alabudde abantu ku kulinda omuntu okujja okubayamba nga abaggya mu bwavu naye banoonye abayinza okubawa amagezi kubanga bulijjo balandiza kibaze.

Mukuumaddamula era asabye abakulembeze okwenyigira mu nteekateeka ezikulaakulanya abantu butereevu era bafeeyo okulaba ng’obubaka bunnyikira mu bantu bakulaakulane.

Minisita w’Amawulire n’Okukunga abantu ba Beene, Owek. Israel Kazibwe Kitooke yeebazizza Kamalabyonna olw’okuzibula Bannabutambala amaaso nebalima emmwaanyi okugatta ku  ntangawuzi namayirungi.

Ye Omulimi Ssentongo John akuutidde abantu okulima okukutwala ng’omulimu kuba kumusobozesezza okulambulwa Katikkiro neyeeyama okugenda mu maaso n’okulima emmwaanyi wansi w’Emmwanyi Terimba.

Ssentongo akunze abantu okudda mu byalo balime nga batandika n’ekitone basobole okulaakulana era bulijjo banoonyenga okumanya okusobola okugenda mu maaso.

Mu kulambula kuno Katikkiro Mayiga awerekeddwako, Minisita Noah Kiyimba, Minisita Amis Kakomo n’abakungu abalala.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist