
Bya Ronald Mukasa
Bulange – Mmengo
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye nakola ekyukakyuka mu bakulembera amasaza, Abamyuka babwe ssaako n’Abaami b’Amagombolola, Emiruka n’Ebyalo bye.
Bino birangiriddwa Minisita w’Amawulire Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, Oweek Israel Kazibwe Kitooke mu kiwandiiko kyasomedde bannamawulire ku Mmande e Bulange Mmengo.
Okusinziira ku kiwandiiko ekiriko omukono gwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, Nnyinimu asiimye abawummudde obuweereza buno era nayozaayoza abafunye obuvunaanyizibwa obuggya era nabaagaliza obuweereza obulungi.

Mu ngeri yeemu Katikkiro Charles Peter Mayiga ayozayozezza Abaami abaweereddwa Obwami era naabaaniriza mu buweereza bwa Ssaabasajja Kabaka naddala mu lugendo lwokuzza Buganda ku ntikko.
Ono annyonnyodde nti obuweereza bwabano butandikiddewo kyokka Minisitule ya Gavumenti ez’Ebitundu egenda kukola entegeka mu bwangu okulaba nga bakkalira bulungi mu buvunaanyizibwa buno.
Beene era akoze enkyulakyuka mu magombolola n’emiruka era nasiima nalonda Abaami ku byalo 8025 mu Buganda.
Olukalala lw’ Abaami b’Amasaza luyimiridde bweruti
1. Oweek Hajji Ahmed Magandaazi Matovu, Kaggo-kyaddondo
2. Oweek Deo Kagimu, Mukwenda-Ssingo
3. Oweek Vincent Matovu, Ssekiboobo-Kyaggwe
4. Oweek Sarah Nannono Kaweesi, Kayima-Mawokota
5. Oweek Williams Fred Mugabi, Kitunzi-Ggomba
6. Oweek Jude Muleke, Pookino- Buddu
7. Oweek Samuel Ssemugooma, Mugerere-Bugerere
8. Oweek Ronald Mulondo, Kangaawo- Bulemeezi
9. Oweek Robert Ssonko, Kimbugwe-Buluuli
10. Oweek Charles Kiberu Kisiiriza, Ssebwana-Busiro
11. Oweek Israel Lubega Maaso, Kasujju-Busujju
12. oweek Hajji Sulaiman Magala, Katambala-Butambala
13. Oweek Michael Wamala Mboowa, Mbuubi-Buvuma
14. Oweek Andrew Ssempija Mukasa, Luweekula-Buweekula
15. Oweek David Luyimbaazi Kiyigi, Lumaama-Kabula
16. Oweek Gertrude Nakalanzi , omukwanaganya w’emirimu gya Ssaabasajja mu Ssaza ly’e Kkooki.
17. Oweek John Kankaka, Muteesa-Mawogola
18. Augustine Kasirye, Kweba-Ssese
Abaami abawummudde Obwami bw’Amasaza kuliko;
Oweek David Nantagya, Abadde ow’essaza Mukwenda-Ssingo
OweekElijah Bigere, abadde ow’essaza Ssekiboobo-Kyaggwe
Oweek Gabriel Kabonge, abadde ow’essaza Kayima-Mawokota
Oweek Selestino Jackson Musisi, abadde Ow’essaza Kitunzi-Ggomba
Oweek James Ssempigga, abadde ow’essaza Mugerere-Bugerere
Oweek Gerald Kyanjo, Abadde ow’essaza Kimbugwe -Buluuli
Oweek, Mark Ggingo Kaberenge II, abadde Ow’essaza Kasujju-Busujju
Oweek Immaculate Nantaayi Kafeero, Abadde Ow’essaza Luweekula-Buweekula
Oweek Muhammad Sserwadda abadde ow’essaza Muteesa Mawogola.









