
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga akubye bannabyabufuzi akaama bulijjo okubaako byebeerekereza basobole okubaako ebintu ebinene byebatuukako mu lugendo lwabwe.
Obubaka buno Kamalabyonna abyogeredde mu nsisinkano gyabaddemu ne Bannabuddu abavudde e Nyendo Mukungwe nga bakulembeddwa omubaka Mathias Mpuuga Nsamba ne Bannabusiro abakuliddwa Medard ku Lwokusatu bwebabadde bazze okugula emijoozi gy’Emisinde gy’ Amazaalibwa .
“Emirundi mingi tubaako byetwerekereza olw’ekiruubirirwa ekirala ekinene. Mu byobufuzi twagala ababirimu nga bakkaanya ekyo kiruubirirwa kinene,” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza
Kamalabyonna agambye nti okutuula, okuteeseganya n’okuwuliriza omulala kikulu nnyo mu by’obufuzi kuba kano si kabonero ka bunafu nga abamu bwebalowooza.
Owek. Mayiga atendereza emirimu egikoleddwa ababaka Mpuuga ne Ssegona mu Palamenti kuba kino kiyambye okubaako ettofaali eriteekebwa ku nkulaakulana ya Buganda ne Uganda.
Bannabyabufuzi bulijjo abasabyew okuwuliriza ebirowoozo by’ abantu, babinywerereko era bafube okubitambuza era abo abava mu Buganda banywerere kwebyo Buganda byekiririzaamu era baleete ebiteeso ebigasa kulwa Uganda eyawamu.
Katikkiro Mayiga yeekokodde eby’obufuzi ebyakaleega bica ebiriwo ennaku zino naye nakakasa nti kino kyetaagisa kuba buli muntu asobola okunyiiga wabula naasaba ababeera banyize okufuna eky’okuyiga mwekyo era baleme kutuuka ku mbeera yakutulika.
Ku nsonga y’akawuka ka Mukenenya, Mukuumaddamula abeebazizza okugula emijoozi naye nakuutira abavubuka abato okumanya nti akawuka ka Siriimu weekali era baleme kulowooza nti buli omu mulamu.

Ye Omubaka Mathias Mpuuga yeebazizza Nnyinimu olw’okulambika obulungi Obuganda ku nsonga z’okulwanyisa Mukenenya ekiyambye okukendeeza akawuka ka Mukenenya.
Owek. Mpuuga alabudde abavubuka ku kutambula ekiwalazima kuba tebalina webajja kutuuka kuba omuntu atamanyi bwayimiridde mu by’obulamu tasobola kusalawo bulungi kwekyo kyalina okuzzaako okukola.
Ono asabye Obuganda okwongera okulambika obukulembeze mu Buganda, abakulembeze bamanye nti buli kyebakola bakikola mu linnya lya Beene era bamalirire mu butegeefu era bamanye nti Buganda tefaanana kitundu kirala kyonna kuba ekulembeza nsonga .
Omubaka wa Busiro East, Medard Ssegona annyonnyodde nti ekibaleese kwekwongera okukakasa obuwulize bwabwe nga Bannabusiro eri Ssaabasajja Kabaka nga beenyigira mu misinde gy’omwaka guno.









