
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Sipiika wa Palamenti y’eggwanga Anita Annet Among n’ababaka ab’enjawulo bakiise embuga mu Bulange e Mmengo okuwagira enteekateeka y’okugula emijoozi gy’emisinde gya Kabaka egy’omwaka 2024 n’obukadde bwa silingi 50.
Obugenyi buno, Sipiika Among abukoze ku makya g’Olwokubiri nga abadde awerekeddwako omumyuka we Thomas Tayebwa, Kamisona Mathias Mpuuga n’ababaka abalala era ayaniriziddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga n’abakungu abalala.
Bw’abadde amwaniriza Katikkiro Mayiga ategeezezza nti obugenyi buno bukulu nnyo kuba buguddewo essuula y’enkolagana entongole ne Palamenti y’eggwanga okulaba nti embeera y’ebyobulamu ekyukamu.
Owek. Mayiga era asabye ababaka ba Palamengi okwongera okuteeka amaanyi ku by’obulamu mu mateeka gebayisa, amalwaliro gazimbibwe, gateekebwemu eddagala n’ebikozesebwa, n’abasawo baweebwe emisaala baleme kuwankawanka olwo eggwanga likulaakulane.

Mayiga ababaka abakuutidde obutamalira nnyo budde ku by’obufuzi wadde kyebali naye bafeeyo ku bintu ebirala ebikulu omuli eby’obulamu n’ebirala.
Mu kwogera kwe, Sipiika Among annyonnyodde nti bamanyi bulungi obuzibu ekirwadde kya Mukenenya bwekitadde ku bantu bwatyo neyeebaza Obwakabaka olw’enteekateeka eno n’okuyambako gavumenti ku lutalo luno.
Sipiika Among akunze abantu okujjumbira enteekateeka eno era neku lunaku lw’emisinde nga Ssande 7 beetabemu butereevu kuba naye yamaze dda okwetegeka.
Okusobola okunnyikiza enkolagana , Sipiika Among asabye Katikkiro Mayiga amuwandiikire butereevu era abawengayo akadde asobole okubalambika ku nsonga ez’enjawulo.

Ye Ssenkulu w’ekitongole kya Majestic brands, Omuk. Remmy Kisakye ategeezezza nti olw’enteekateeka eno ey’emisinde akawuka ka Mukenenya kakendedde mu disitulikiti za Buganda ez’enjawulo bwatyo naasaba abantu obtagisaagiramu.
Emisinde gya #KabakaRun2024 gigenda kuddukibwa ku Ssande nga 7 mu Lubiri e Mmengo so nga obujoozi bw’Emisinde gino butundibwa mu matundiro ag’enjawulo okwetoloola eggwanga.









