

Twebaza Katonda atusobozesezza okutuuka ku Mazuukira ga Mukama waffe Yesu Kristo ag’omwaka 2024. Tukulisa bannaffe abeenyigidde mu kwegayirira nga basiiba. Tusaba Omukama abawe empeera mu kwegayirira kwammwe. Twongere okusabira abantu baffe abali mu bwetaavu naddala olw’embeera y’ebyenfuna eyekanamye mu ggwanga.
Essomo eritujjukizibwa bulijjo nga tukuza Amazuukira ye, Petero okwegaana Yesu ne Yuda okulya olukwe mu Yesu! Bulijjo tufube okunywerera mu ebyo byetukkiririzaamu tuleme okuwubisibwa n’okwegaana bantu bannaffe olw’ebyenfuna n’obugagga. Tusse ekitiibwa mu ndagaano zetukola bulijjo nga teziri mu buwandiike wadde okubeera n’omujulizi, wabula okwesigangana ng’abantu. Ensonga eno nkulu nnyo eri abakulembeze baffe ne bannabyabufuzi naddala nga tujjukira omukwano n’obwetowaze obweyolekera mu kubonaabona kwa Yesu Kristo.
Waliwo okugenda mu maaso mu lutalo lw’okulwanyisa mukenenya era ebibalo biraga nti disitulikiti ezaali ekkumi (10) eza Buganda nga zezaali zisinga okubeeramu abantu abalina mukenenya kaakati zaafuuka ssatu (3). Kino kiragira ddala okugenda mu maaso mu ggwanga lyonna mu lutalo lw’okulwanyisa okusaasaana kwa mukenenya. Tukubiriza abantu baffe mu ggwanga lyonna twongeremu amaanyi mu lutalo olw’okukendeeza okusaasaana kwa siriimu.
Nga tugoberera omulamwa gw’Emisinde gy’Amazaalibwa egy’omwaka guno, tukubiriza abantu baffe okugula emijoozi n’okujja mu Lubiri okudduka nga 7 April olw’ekigendererwa eky’okukungaanya obuyambi obwetaagibwa mu bungi mu kulwanyisa mukenenya.
Amazuukira gatujjukize obwetowaze okukolerera emirembe n’okuyamba abali mu bwetaavu. Naffe tweweeyo okubikolerera bulijjo tusobole okubeera mu nsi yaffe mu mirembe n’essanyu.
Tubaagaliza Amazuukira ag’emirembe n’essanyu mu bulamu bwammwe bulijjo.
Ronald Muwenda Mutebi II
KABAKA









