
Bya Ronald Mukasa
Kampala – Kyaddondo
Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Ronald Kayizzi ayongezaayo omusango oguvunaanibwa Musana Ibrahim (Pressure Pressure) okutuuka nga 11 omwezi ogujja.
Omuvubuka ono alemereddwa okuleeta mu kkooti ebyamusabwa okweyimirirwa okuli ekyapa ky’ettaka n’ensimbi obukadde 30.
Musana atageezezza omulamuzi Vincent Kayizzi nga bwatulugunyizibwa mu kkomera kyokka basabiddwa okulaga obukakafu nga talina wabula oludda oluwaabi lutegeezeza nga Sampolo z’omusaayi Musana zeyeemulugunya okuggyibwako bwezaali mu mateeka ge kkomera kuba baalina okumanya embeera y’obulamu bwe.
Omulamuzi alagidde ono adde kwallimanda okutuusa nga 11 omwezi ogw’okuna, lwanadda okuddamu okuwulira emisango gye.
Musana avunaanibwa emisango omuli okuvvoola obwakabaka n’abakulembeze abalala nokutambuza obubaka obusiga obukyaayi.
Bbo Bannankobazambogo ababadde ku kkooti eno baweze obutakoowa kweyiwa mu kkooti nga balwanirira ekitiibwa nokukuuma Nnamulondo.
Kkooti eyongezaayo omusango guno okutuusa nga 11 omwezi ogugya okutandika okuguwulira.









