Bya Francis Ndugwa
Mawogola
Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone mu Bwakabaka bwa Buganda Owek. Robert Sserwanga akubirizza abavubuka okwettanira eby’obulimi saako neby’obukulembezze kubanga ly’ekkubo lyokka eriyinza okubaggya mu bwavu.
Okwogera bino abadde mu ssaza Mawogola bwabadde agenze okulambula abavubuka abayina byebeetandikirawo okukola mu by’obulimi wamu n’okulayiza obukiiko bw’abavubuka mu Mawogola.
Owek. Sserwanga asoose kulambuzibwa bavubuka bano nabaako entanda gyabawa okusobola okwongera okulaakulana n’oluvannyuma naasisinkana abavubuka ba Buganda Youth Council e Bukaana okulaba embeera mwebawangaalira.
Mu ngeri yeemu Minisita Sserwanga alayizza obukiiko bwabavubuka era nabakalaatira okubeera ab’obuvunaanyizibwa basobole okugenda mu maaso.
Ye munnamateeka wa CBS , Vivian Namale asabye abavubuka bano okwongera okubeera abakozi era abamalirivu okusobola okuzza Buganda ku ntikko.
Omwami w’essaza Mawogola, Muteesa Muhammad Sserwadda yeeyamye okuyambako abavubuka mu ssaza Mawogola okusobola okutumbula enkulaakulana.
Abakulembeze b’abavubuka n’abavubuka ab’enjawulo nabo batubuulidde byebakoze okulaba nga beekulaakulanya.
Abamu ku bakulembeze b’Abavubuka bano Saula Julius ng’ono mulimi wa mmwaanyi bategeezezza nti enteekateeka z’Obwakabaka ezireetebwa Nnyinimu zezimu ku bibayambye okukyuusa embeera zaabwe.