
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Abantu ba Kabaka abawangaalira e Bungereza beesunga misinde gy’Amazaalibwa era bano baliko emijoozi gyebaguze Embuga okusobola okunyumirwa enteekateeka eno.
Bano obugenyi babukoze ku Lwakuna ku mbuga enkulu e Bulange e Mmengo nga gino gibakwasiddwa Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu era avunaanyizibwa ku bantu ba Kabaka abawangaalira ebweru, Owek. Joseph Kawuki.
Owek. Kawuki akoowodde abantu ba Kabaka mu Masaza gonna wano mu Buganda n’ebweru okugula emijoozi nga bukyaali basobole okwetaba mu misinde n’okuwagira enteekateeka ya Kabaka ey’okulwanyisa obulwadde bwa Mukenenya.
Ye Omumyuka w’Omwami wa Kabaka mu Ssaza lya Bungereza ne Ireland Owek. Godfrey Ssekisonge
agamba nti nabo beeteeseteese okudduka nga 7/04/2024 era bajja kuddukira mu North London, bwatyo n’asaba abantu ba Ssaabasajja mu Ssaza gonna ebweru okugula emijoozi.
kinajjukirwa nti emisinde gino Beene yasiima giddukibwe wansi w’omulamwa gwa ‘Abaami tubeere basaale okulwanyisa Mukenenya tutaase abaana ab’obuwala.’









