

Mu kaweefube w’okulambula abavubuka abakola emirimu egy’enjawulo mu Buganda eyatongozebwa Minisitule y’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone, Oweek Robert Serwanga Ssaalongo ssabbiiti yagimaliddeko Gomba nga lino ly’Essaza ery’okuna ly’alambudde mu nteekateeka eno.

Abamu ku bavubuka abaalamuddwa kuliko Sheikh Lubega Musa Ssentebe w’Abavubuka mu Butambala ng’alimira Ggomba Kitwe mu Kyegonza, alima ebitooke, alunda enkoko n’ebiralaMw. Nkugwa Ivan ono mulimi wa mmwanyi, Ssekitto Christopher naye mulimi wa mmwanyi, ate Omulangira Mawanda ayokya byuma e Kiriri – Gomba, Mw. Mpindi alina ekyuma ekisunsula emmwanyi wamu ne Musoke Murshid alima entangawuzi.
Oweek. Sserwanga asanyukidde Bannagomba olw’okunyikira okukola, era abasabye okwongera okufuna obukugu bw’ebyo bye bakola basobole okusitula omutindo mu mirimu gyaabwe ate n’okuvuganya mu katale k’Ensi yonna.
Abategeezeza nti Obwakabaka nga bukolagana ne bannamikago ab’enjawulo wamu n’ettendekero lya Buganda Royal Institute, bwakugezesa Abavubuka abasoba mu 100,000, bafune ebbaluwa eziraga obukugu bwabwe mw’ebyo bye bakola, era n’asaba Bannagomba okujjumbira enteekateeka ng’etandise.


Minisita era atongozza obukulembeze bw’abavubuka obw’eggombolola 4 wamu n’okuggulawo omupiira gw’empaka ze Ggombolola wakati wa Mpenja ne Kyegonza era omupiira gwawedde maliri ga ggoolo 1:1.Olugendo lwa Minisita e Gomba lwetabiddwamu abakiise b’Abavubuka mu lukiiko lwa Buganda, abakulembeze b’Abavubuka ku mitendera egy’enjawulo, bannabyafuzi n’abantu abalala.









