
Bya Ronald Mukasa
Bulange – Mmengo
Bannakyewa abeegattira mu mukago gwa ‘Uganda Alcoholic Policy Alliance’ bakyadde Embuga okumanyisa Obwakabaka ku nteekateeka y’okukugira enkozesa n’okunywa omwenge li Uganda Alcoholic Control.
Ensisinkano eno eyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu nga yeetabiddwamu Minisita w’ensonga z’Olukiiko, Owek. Noah Kiyimba kulwa Katikkiro.
Akuliddemu abagenyi bano era Ssentebe w’Omukago guno, Juliet Namukasa agamba nti batalaze ebitundu by’eggwanga ebyenjawulo okubunyisa enjiri eno era bakizudde nti omwenge nsonga nkulu nnyo mu nnono n’obuwangwa bw’Abafirika.
Namukasa annyonnyola nti wadde guli gutyo naye tewali bukulembeze bwagala bantu baabwo nga bagangayira n’okutamiirukuka ekimu ku bizingamizza enkulaakulana.

Ssentebe Namukasa agattako nti ebaggo lino ligendereddwamu okutaasa abaana abatanetuuka okutandiika okwekatankira omwenge ekiteeka obulamu bwabwe mu mattiga saako nokutta ebiseera byabwe eby’omu maaso.
Mu kwogera, Owek. Noah Kiyimba yeebazizza nnyo bannakyewa bano olwekugenyiwalako embuga era nategeeza nti ensonga ye baggo ku mwenge ya mugaso nnyo eri eggwanga.
Minisita Kiyimba ategeezezza nti yadde omwenge kitundu ku buwangwa n’ennono naddala ku mikolo gy’ okwanjula, okwabya enyimbe nemirala, waliwo abantu abagukozessa obubi negubazza emabega.
Ono agamba nti obubenje buno butuuseewo nga bwekuusa ku mwenge olw’abagoba okulemwa okusalawo amangu n’okulemwa okumanya ekituufu.
Owek. Kiyimba annyonnyodde nti abantu ba Kabaka bangi abakola emirimu egyekuusa ku mwenge omuli okusogola, okutunda n’okulima ebikozesebwa okuyiisa omwenge nga bwekityo balina okwetegereza ebbago lino kyelyogera ku bantu bano.
Minisita Kiyimba wabula akinogaanyiza nti yadde ebizibu bingi ebiri mukunywa omwenge, mulimu ebilungi bingi singa omuntu anywa ogw’ekigero.
Ensisinkano eno yeetabiddwamu Minisita w’Amawulire n’Okukunga Abantu ba Kabaka, Owek. Israel Kazibwe Kitooke, Ssaabawolereza w’Obwakabaka, Owek. Christopher Bwanika n’abakungu abalala.









