• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Minisita Kazibwe asabye Bannabuddu okunyweza obuyiiya okusobola okulaakulana

Gambuuze by Gambuuze
March 5, 2024
in Amawulire
0 0
0
Minisita Kazibwe asabye Bannabuddu okunyweza obuyiiya okusobola okulaakulana
0
SHARES
29
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ronald Mukasa

Bulange – Mmengo

Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’Amawulire n’Okukunga abantu ba Kabaka, Owek. Israel  Kazibwe Kitooke  akuutidde  abantu ba Kabaka okubeera abayiiya bwebaba baagala okugenda mu maaso.

Okwogera bino, Owek. Kitooke abadde atikkula Oluwalo kulwa Kamalabyonna  okuva mu Bannabuddu okuva mu ggombolola okuli Mutuba XV Kirumba, Mutuba XXI ne Mutuba XXII abakiise Embuga nga bakulembeddwamu Omumyuka wa Ppookino Sheikh Swaib Bwanika Kasonso.

Owek. Kazibwe bano abasabye bulijjo okunyweza ensonga z’omulembe omuggya eziri mu Nnamutaayiika okusobola okuzza Buganda ku ntikko nga muno mulimu okukola n’okwagala, obunyiikivu awamu n’obwerufu okusobola okulaakulana.

 Minisita Kazibwe agamba nti okuva edda Buddu emanyiddwa olw’obuyiiya nga obubazzi, okukomaga embugo, okulima obutiko nebirala  naabasaba okukuuma omumuli guno.

Ye minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu mu Bwakabaka, Owek. Joseph Kawuki  yeebazizza  Bannabuddu  olw’okujja mubungi okukiika embuga bwatyo naabakuutira bulijjo okujjanga n’abaana abato basobole okumanya emirimu gy’Embuga bwegitambula.

Owek. Kawuki abakuutidde bulijjo okwekiririzaamu kuba kino  kyekibafudde abenkizo ku bantu abalala abafeebya ebitundu gyebava.

 Akulembeddemu Bannabuddu kulwa Ppookino, Sheikh Swaib Bwanika Kasonso yeebaziiza Ssaabasajja olw’okubazimbira eddwaliro e Mukungwe ssaako nebidduka ebyaweebwa Abaami ba Beene ku magombolola okusobola okwanguya emirimu.

Omubaka wa Bukomansimbi North,   Dr. Ndiwalana Christine Nandagire yeebazizza Obwakabaka olw’ enteekateeka y’Emmwaanyi Terimba eyambye abantu be Buddu okulwanyisa obwavu.

Oluwalo oluleeteddwa lukwata mu nsimbi eziwera obukadde 14 n’omusobyo era  omukolo guno gwetabiddwako abantu ab’enjawulo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist