
Bya Ronald Mukasa
Bulange – Mmengo
Abataka Abakulu b’Obusolya ne ba Katikkiro babwe bakungubagidde Omutaka w’ Ekika ky’ Endiga, Lwomwa Daniel Bbosa era nebamutendereza olw’emirimu gyakoledde Obuganda.
Bano ababadde bambadde ekkanzu z’omuleera okutali kkooti ng’akabonero akakungubaga olw’okutemulwa kw’ Omutaka Lwomwa basinzidde mu Bulange e Mmengo mu lukung’aana lwe bakubye okwogerako eri bannamawulire.
Omukulu w’ekika kye Mbogo, Omutaka Kayiira Gajuule, eyaweereza n’omutaka Lwomwa ku lukiiko lw’omukubiriza w’Abataka, ayogedde ku mugenzi nga omuntu eyaleeta ekiteeso ky’okutandika omusomo gw’Abataka ogw’obuwangwa n’ennono, yavujjiirira enteekateeka z’emizannyo gy’Ebika bya Baganda, n’entuula z’Abataka ez’enjawulo.

“Lwomwa yafangayo nnyo namaanyige gonna, n’obusobozi bwonna, okuwagiranga ensonga abeera eyogeddwako nga ate akutte ne Mu nsawo” omutaka Kayiira bw’agasseeko.
Jjajja Kayiira omugenzi era amwogeddeko ng’omuntu abadde assa ennyo ekitiibwa mu buwangwa n’ enonno yadde ng’abadde musajja mulokole.
Omutaka Gajuule agumiza ab’ekika ky’ Endinga nasaba katonda okubawa Omutaka omulala alina embala ng’omugenzi bwabadde.
Ye Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Omutaka Nnamwama Augustine Kizito Mutumba, amwogeddeko nga omuntu abadde omukakkamu, omuteesa omulungi, awabula, ateenyigira mu nkayaana, era atambulira mu ddiini wamu n’obuwangwa bwe.
Nnamwama yenyamidde olw’obutemu obuze bubaawo mu ggwanga nategeeza nti yadde okufa kwateeka, okufa okwekikka kino kuluma nnyo.
Nnamwama era akunze abantu wano muggwanga okwagalana nokutabagana okusobola okukomya ebikolwa ebyettemu.









