
Bya Ronald Mukasa
Lungujja – Kyaddondo
Omukulembeze w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu asaasidde a b’enju y’omukulu w’ekika ky’Endiga Lwomwa Daniel Bbosa eyatemuddwa wiiki ewedde.
Okusaasira kuno Kyagulanyi yakukoledde mu maka g’Omugenzi e Lungujja gyabadde agenze okukubagiza ab’enju eno.
Kyagulanyi ayogedde ku mugenzi ng’abadde ayagala ennyo ekika kye saako nabantu bonna era omukkiriza ate nga mukozi nnyo era eky’okulabirako eri abantu ab’enjawulo.

Ono asinzidde wano nakunga abantu bonna muggwanga okukwatiira awamu, okusobola okumalawo ebikolwa ebyettemu ebizze bimalawo obulamu bw’abantu abawerako wano muggwanga.
Kyagulanyi era akolokosse gavumenti olw’enkola eyakasoobo esusse mukufulumya alipoota ku butemu obuze bubaawo, nasaba alipoota ku ttemu erimu efulume mubwangu kubanga omu kubatamanya ngamba bano yasobodde okukwatiibwa.

Yeebaziiza nnyo abagoba ba bodaboda olw’obuvumu bwebayoleseza bwebagobye nokukwata abassedekezi bano naasaba omutima ogwo okweyongera.
Ate akulira oludda oluvuganya mu Palamenti, Rt. Hon. Joel Senyonyi, asabye wabeewo obwangu mukufulumya alipoota ku ttemu lino neku bannansi abalala abazze battibwa mu mbeera efaanana bweti.

Ssenyonyi naye asabye poliisi okufuna obujjulizi bwe beetaaga okuva ku mumpembe eyasimatusse mubwangu okusobola okumanya abo abali emabega ow’okutirimbula bannansi.









