Bya Stephen Kulubasi
Lungujja – Lubaga
Entiisa ebuutikidde Obuganda bwebufunye amawulire nti Omutaka w’Ekika ky’Endiga, Lwomwa Eng. Daniel Bbosa akubidddwa amasasi agamuttiddewo bwabadde yakatuuka ku kikomera ky’amaka ge agasangibwa e Lungujja mu zooni ya Makamba. Omutaka abadde ne mukyala we Gladys Bbosa ne muzzukulu wabwe mu mmotoka ekika kya Land Cruiser nnamba UAH 637X wabula omukyala n’omwana bo tebatuusiddwako bulabe. Bano babadde bava Kyaggwe ku mukolo gw’okulambula n’okukyalira ku w’Essiga Ssekkoba Stephen Sserunkuuma nga guno gwe mukolo ogusoose mu nteekateeka y’okulambula abakulu b’Amasiga ag’enjawulo gyeyalangirira gyebuvuddeko.

Abasse Omutaka Bbosa babadde batambulira ku ppikipiki, era nga kiteeberezebwa nti bandiba nga balondodde entambula ze zonna ez’olunaku okutuusa lwebatuukirizza ekigendererwa kyabwe. Kigambibwa nti abatemu bano babazizza emmotoka ng’eri kumpi ne ggeeti olwo omuvubuka omu abadde ku mutto gw’omusaabaze n’abuukako n’akuba Omutaka amasasi, n’alingiza ne mu mmotoka okukkasa nti afudde olwo naddamu n’abuukira boda ne badduka.

Aba bodaboda ababadde okumpi bwe bawulidde amasasi, baasazeewo okugoba abazigu bano ppaka bwebabakwatidde mu zzooni ya Bulange okuliraana amaka g’omugenzi Prof. Apollo Nsibambi omu nebamutta ate omulala poliisi emutaasizza era n’atwalibwa mu ddwaliro nga aliko kikuba mukono. Amyuka omubaka wa Pulezidenti e Lubaga Anderson Burora, agambye nti omutemu omu bakizudde nga azaalibwa mu Lungujja, era bwe baabadde bamukuba yagezezzako okudduka ng’adda ewabwe naye abatuuze abaabadde abakambwe ne batamuganya.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, asaasidde Obuganda naddala ekika ky’Endiga olw’okuviibwako Omutaka Lwomwa nategeezezza nti ekissizza Omutaka tebannakitegeera era nasuubiza okukitegeeza Obuganda bwekinaaba kizuuliddwa









