
Ku lw’Obwakabaka, Oweek. Noah Kiyimba, Minisita wa Kabineeti Olukiiko, Abagenyi n’ensonga ez’enjawulo mu woofiisi ya Katikkiro akyaliddeko eb’Enju z’Abagenzi Owek. Dr. Jack Luyombya Mukiibi ne Oweek. Dr. Donald Muguluma Katonda beyajjulula mu Nsi ku ntandikwa y’Omwaka guno.
Obwakabaka butendereza emirimu egyakolebwa ababiri bano mu kiseera webaweerereza emirimu egy’enjawulo egy’Embuga, Minisita yeetisse n’amataaba era n’asaasira nnyo ab’Enganda abakyayita mu kiseera eky’okusoomoozebwa.

Oweek. Kiyimba asabye abaana okwongera okukuuma ekitiibwa kya bakitaabwe ate n’okutambuza omukululo gwe baleeka nga bano abatendereza olw’okukuza obulungi abaana ne babasigamu ensigo ey’obumu okulaba nga ne mu kiseera kye bayitamu kati, bakyaali wamu era abasabye okwongera okunyweza ekyo. Ayongedde okusaba abaana okukuuma ba Maama baabwe n’okubabudaabuda.

Ab’enju basiimye obugenyi era beebazizza nnyo Kabaka olw’okusiima n’alaondobayo abantu baabwe okumuweereza era n’Obwakabaka olw’okubabeererawo mu kiseera kye bayitamu ekitali kyangu.Oweek. Dr. Luyombya yaleka Nnamwandu Omuky. Florence Namayanja Luyombya n’Abaana ate Oweek. Muguluma yaleka Nnamwandu Omuky. Dr. Florence Muguluma n’Abaana okuli ne Oweek. Wasajja Nicholas Muguluma akiikirira abavubuka mu lukiiko lwa Buganda.









