Bya Shafic Miiro
Bulange – Mmengo
Olwaleero ku Bulange e Mengo abakugu okuva mu kitongole kya NARO nga bali wamu n’ekitongole kya BUCADEF basomeseza Abaami ba Kabaka ab’Eggombolola, abalimisa n’abantu abalala engeri y’okulimira ewafunda, ne bababuulira ebirime eby’enjawulo ebivaamu obulungi mu nnima eno.
Amyuka akulira ekitongole kino era omukugu mu kunonyereza ku by’obulimi Dr. Yona Baguma, agambye nti enteekateeka eno yakusooka kusoosowazibwa mu Masaza okuli Kyaddondo, Busiro ne Kyaggwe, kubanga mwe musinga abantu ababeera mu maka abalina ettaka efunda.
Dr. Baguma asabye abantu okujjumbira ennima eno, kubanga ejja kunayambira ddala. Yeebaziza Obwakabaka olw’enkolagana ennungi n’ekitongole, ne yeebaza n’ekitongole kya BUCADEF olw’okukunga abantu abeetabye mu musomo, bwatyo awadde obweyamu obwokunyweza omukago n’Obwakabaka okusobola okusitula embeera z’abantu.
Abasomeseddwa era balagiddwa ennimiro entono eyateekebwa ku Bulange okusobola okulaba n’okukwatako kw’ebyo ebisoose okubasomesebwa mu buwandiike.
Ebimu ku birime ebisobola okulimira Ewafunda kuliko enva endiirwa ng’emboga, ddoodo, nakati n’ebirala, ebitooke, ennyanya n’ebirala.
Abasomeseddwa beebazizza Obwakabaka olw’okubazibula amaaso ku nnima eno, era beeyamye okugisomesa abantu abalala, basobole okufunamu emmere, ensimbi, ate n’okusitula embeera zaabwe eza bulijjo.