
Bya Ronald Mukasa ne Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kusolooza omusolo mu ggwanga ki Uganda Revenue Authority (URA) kyesambye eby’okuggya omusolo ku Luwalo oluleetebwa abantu ba Ssaabasajja Kabaka okuyambako ku ntambuza y’emirimu.
Okulung’amya kuno kukoleddwa Ssenkulu wa URA, John Musinguzi bw’abadde mu nsisinkano ne Katikkiro Charles Peter Mayiga leero ku Lwokubiri mu Bulange e Mmengo.
Ssenkulu wa URA John ategeezezza nti omusolo baguggya ku bizineensi n’ebintu ebirala ebiyingiza ensimbi sosi birabo biweebwayo okukyusa embeera z’abantu nga bwekityo tebasobola kuggya musolo ku birabo bya Beene.
Kino kiddiridde amawulire okuyitingana nga bwewaliwo enteekateeka okuva mu kitongole kino okuwozanga ku nsimbi z’Oluwalo ezibeera zireeteddwa Embuga.
Musinguzi ayongeddeko nti omusolo oguggyibwa ku Bannayuganda gwa miteeko esatu (3) gyokka; okuli abafuna omusaala kyiyite ‘Pay As you Earn’, ogw’abakola bizinensi (Business Tax), ssaako ogw’ebizimbe ebipangisibwa (Property Tax).
Musinguzi agambye nti beetaaga ensimbi okukulaakulanya eggwanga naye balina okusoomozebwa nti bannayuganda bangi bajeema okuwa okumusolo kwekusalawo batuukirira obukulembeze nga Buganda busobole okuyambako ku nsonga eno.

Ono era ayanjulidde Katikkiro Oluwalo lwabwe okuva Mu URA lwabukadde bw’ensimbi 5 era yeeyamye okugenda mu maaso nga bawagira enteekateeka z’Obwakabaka bwa Buganda.
Wano Katikkiro Charles Peter Mayiga ategeezezza nti ekyali kyabwenkannya ate okutandika okusolooza omusolo ku Luwalo abantu lwebawaayo nga ebirabo okuddukanya emirimu gy’Omutanda.
Owek. Mayiga era asabye bannansi okuwa omusolo bwebabaagala gavumenti ekole ku bwetaago bwabwe n’empeereza ez’enjawulo zisobole okubatuukako.
Era Kamalabyona asabye bannyini bizinensi mu ggwanga okusaawo enkolagana ennungamu ne URA okwewala okusika omuguwa munsonga ezenjawulo buli ludda lusobole okufunamu.
Ensisinkano eno yeetabiddwamu abakungu ab’enjawulo okuli; Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro Robert Waggwa Nsibirwa, Minisita w’Amawulire n’Okukunga abantu ba Beene, Owek lsreal Kazibwe Kitooke n’abakungu abalala abavudde mu kitongole ki URA.









