Bya Shafic Miiro
Lweza – Busiro
Olwaleero Ssaabasumba Paul Ssemogerere akulembeddemu mmisa y’okusabira Charles Adrian Bbaale Mayiga Junior eyeteekerateekera okugenda mu bufumbo obutukuvu ssabbiiti ejja ne munne Sonia Elizabeth Nnaabagereka.
Ssaabasumba yeebaziza Katikkiro n’Omukyala Margaret Mayiga olw’okukuza obulungi abaana nga balina eddiini ate nga bamanyi Katonda, era bwatyo asabye Bbaale okukulembeza Katonda mu lugendo lw’obufumbo lwayolekedde olwo buli kimu kijja kumwanguyira, Bp. Ssemogerere ajjuliza bayibuli egamba nti ekintu kyonna ekizimbiddwa ku musingi omuggimivu kiba nga lwazi olutayinza kuyuuzibwayuuzibwa bwatyo n’ayagaliza Charles ne Elizabeth Obufumbo obuzimbiddwa ku musingi omuggimivu.
Katikkiro Charles Peter Mayiga Taata wa Bbaale asulirira okubeera omugole agamba nti bategese mmisa eno okusibirira Mutabani waabwe emikisa gya Katonda mu lugendo lw’obufumbo lwayolekedde bwatyo n’amusabira emikisa gya Katonda okutambula naye.
Mw. Francis Buwuule ng’ono ye yazaala Bbaale mu batisimu amusabye obutatya lugendo lwayolekedde kubanga alina ab’okulabirako bangi abawangaalidde mu bufumbo ate nga babweyagaliramu nga bano bajja kumulungamyanga asobole okwongera okumanya obuvunaanyizibwa bwayolekedde. Amusabye okunyweza omukwano gwalina ne munne basobole okuwangaala nga bali wamu.
Mmisa eno yeetabiddwako bannaddiini ab’enjawulo, ab’oluganda ne mikwano gya Famire, era ebadde mu maka ga Katikkiro e Lweza. Charles Bbaale waakugattibwa Ssabbiiti ejja ne munne Sonia Elizabeth Nnaabagereka mu Lutikko e Lubaga.










