Bya Ssemakula John
Makerere – Kyaddondo
Omumyuka Asooka owa Katikkiro era Minisita w’obuyiiya n’enzirukanya y’emirimu, Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo, alondeddwa ng’omu ku bakenkefu abasinga mu ggwanga.
Ebbaluwa eno emusengeka mu lukalala luno emuweereddwa olwa leero ku mukolo ogubadde ku Ssettendekero wa MUBS e Nakawa ku Lwokuna.
Okusinziira ku bakugu ababadde emabega w’okukola olukalala luno, basinzidde ku muwendo gw’abayizi abafunye ddiguli ya PhD omuntu baafulumizza. Okunoonyereza (Research) kwakoze, nebiwandiiko byafulumizza
Ebisaanyizo ebigobererwa okuteekebwa ku lukalala luno, kuliko, omuwendo gw’abayizi abafuna digiri ya PhD boofulumya, okunoonyereza (research) kwokoze, ebiwandiiko by’olukale byofulumizza, omuwendo gw’abantu abakozesa okunoonyereza kwokoze mu nsi yonna, emirimu gyokoze mukitundu n’ebintu ebirala.
Olukalala luno luliko abantu abalala okuli; Assoc. Prof. Irene Nalukenge, Prof. Laura Orabia, Prof. Stephen Nkundabanyanga ne Prof. Joseph Ntayi.