• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Katikkiro Mayiga alambudde Abanoonyereza ku Mmwaanyi (NACORI), asabye abalimi okwekwata Saayansi bafunemu

Gambuuze by Gambuuze
January 30, 2024
in Agafa e Mengo, Amawulire, Eby'obulimi
0 0
0
Katikkiro Mayiga alambudde Abanoonyereza ku Mmwaanyi (NACORI), asabye abalimi okwekwata Saayansi bafunemu
0
SHARES
104
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Kituuza – Kyaggwe

Katikkiro Charles Peter Mayiga  alambudde abanoonyereza ku kirime ky’Emmwaanyi aba National Coffee Research Institute (NACORI) e kituuza Mukono okulaba engeri gyebasobola okweyambisa Saayansi ne Tekinologiya okuganyula abalimi.

Ku bugenyi buno, Kamalabyonna awerekeddwako Owek. Hajji Amisi Kakomo, Owek. Israel Kazibwe n’abakungu okuva mu kitongole kya  BUCADEF.

Katikkiro Mayiga abadde nti bagenderedde okulaba engeri gyebakenenula ebirungo ebyenjawulo okuva mu mmwanyi n’okunoonyereza kwebakola ku bika by’emmwanyi ebyenjawulo okwongera okuzitumbula.

Owek. Mayiga agamba nti emabegako abantu babadde tebamanyi bulungi mulimu gwebayinza kukola nebagunywererako wadde abantu baali balima Vanilla nebirala naye bwebatyo baasalawo okukomyawo obulimu bw’emmwaanyi nga bayita mu nteekateeka y’ Emmwaanyi Terimba eyatandikibwa mu 2016.

Kamalabyonna Mayiga  naye kino okutuukirira abalimi baba balina okufuna mu mmwaanyi era kino kisoboka basimba ebika ebisobola okulwanyisa obuwuka, okugumira ekyeeya, okusimba ebika by’emmwaanyi ebigendera ku bika by’ebyettaka nga Arabica bwali e Bugisu.

Ono akuutidde abalimi okumanya ennima entuufu okusobola okufuna ekisingira ddala mu mmwaanyi okuviira ddala ku kusimba okutuuka ku makungula.

Mukuumaddamula Mayiga annyonnyodde nti okugattako omutindo nakyo kintu kikulu ekisobozesa omulimi okufuna mu maanyi ge kuba kizuuse nga bingi ebisobola okuva mu mmwaanyi  omuli ebizigo, eby’okwewunda n’okulongoosa emibiri naye nga bino byonna byetaagisa bannasayansi abasobola okunoonyereza nebawa amagezi ku kirina okukolebwa.

Ate Minisita w’Ebyamawulire n’Okukunga Abantu mu Buganda, Owek. Israel Kazibwe Kitooke asabye abalimi okufaayo ku ndabika yabwe kisobozese omulimu guno okugwagazisa abantu abalala era baguwe n’ekitiibwa.

Ye akulira NACORI, Dr. Arinaitwe Geoffrey agamba nti ekirime ky’emmwaanyi kitegeeza kinene mu ggwanga era tosobola kwogera ku mmwaanyi notayogera ku maanyi Bwakabaka bwa Buganda gebwateekamu okulaba nti ekirime kino kitumbulwa.

Dr. Arinaitwe agasseeko nti enteekateeka  ya Buganda ey’Emmwaanyi Terimba bakwongera okugiwagira nga NACORI  nga beesigama ku ndowooza n’embeera za bannansi n’amagezi ga Tekinologiya ageetagibwa abalima ekirime kino.

Ono alaze nga mukunoonyereza bwebasobodde okukola ebizigo, obuwoowo, butto, n’ebintu ebirala nga bino byonna bisobola okuyamba okutandika amakolero n’okugakulaakulanya eggwanga n’okuwagira omulimi.

Dr. Arinaitwe annyonnyodde nti ekizibu ky’amawanga g’Afirika bwe bwavu, endwadde n’obutamanya naye nga bino byonna bisobola okulwanyisibwa singa omuntu  alima ekirime kino.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.