
Bya Gerald Mulindwa ne Francis Ndugwa
Kakeeka – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abayizi abatikkiddwa ku Buganda Royal Institute of Business and Technical Education, bakkirize basooke bakozesebwe mu kampuni ez’enjawulo naye babeere beerufu, beegombe okuyiga, babeere banyiikivu, beetowaaze, bakoppe enkola ejja okubajuna.
Obubaka buno Katikkiro Mayiga abuwadde atikkira abayizi ba Buganda Royal Institute of Business and Technical Education, abamalirizza emisomo ku maddaala ag’enjawulo e Kakeeka Mmengo ku Lwokuna.
Owek. Mayiga akuutidde abafunye amabaluwa okulemerako wadde waliwo ebisomooza, era bakimanye nti teri kaweweevu, babeere bagumiikiriza, babeere n’amagezi agaawula ekikyamu ku kituufu, babeere bantubalamu era bategeere ennyingo z’obuntubulamu.
Ye Minisita w’ebyenjigiriza n’enkulaakulana y’Abantu, Owek. Cotilda Nakate Kikomeko, yeebazizza Obwakabaka olw’okusoosowaza ebyenjigiriza nebiteekebwa ku mwanjo era n’asaba abazadde okufaayo okukuza abaana baabwe mu mpisa baleme kubalekera masomero.

Akubirizza abayizi okubeera n’obuntubulamu lwebajja okumalako mu nsi eno.
Abadde omugenyi ow’enjawulo ku mukolo guno era Ssenkulu wa Uganda Communications Commission, Hon. Nnyombi Ttembo, asuubizza okufunira ettendekero lino ekyuma kya 3D printer wamu n’okuyambako okugaziya ku tterekero ly’ebitabo abayizi basobole okwegazaanya obulungi.
Yeebazizza amaanyi Ssaabasajja gaatadde mu byenjigiriza omuli ettaka okutudde Kyambogo University, ne Makerere University amatendekero agabangudde abaana ba Uganda nebafuula ab’omugaso. Wano asabye abatikkiddwa obutabongoota, baddeyo bongereko eddaala eddala kibayambe okwongera ku bukugu.

Ssenkulu w’ettendekero lino, Oweek Joseph Balikuddembe Ssenkusu, asabye abatikkiddwa okumanya nti ensi gyebayingidde yakuvuganya era bakozese obukodyo bwebafunye okuganyula ensi.
Kitegeerekese nti abayizi 1379 batikkiddwa mu masomo ag’enjawulo nga ku bano 673 bawala ate 706 balenzi. Abayizi 491 bafunye Dipulooma ate 732 bawangudde Satifikeeti so nga 156 bayitidde mu nkola ya Directorate of Industrial training.
Ku bayizi abatikkiddwa, 16 bebayitidde mu ddaala erisooka (First class), nga Namakula Jesca ye muyizi asinze mu bonna n’obubonero 4.9.









