• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Kabaka asaasidde ab’enju ya Benedicto Kakeeto Kasekende

Gambuuze by Gambuuze
January 24, 2024
in Amawulire
0 0
0
Kabaka asaasidde ab’enju ya Benedicto Kakeeto Kasekende
0
SHARES
26
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Kiteezi – Gayaza

Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, asaasidde ab’enju y’omugenzi Benedicto Kakeeto Kasekende olw’okuviibwaako nnyabwe Angella Namusoke Kasekende maama wa Owek. Martin Sseremba Kasekende era maama w’eyaliko Omumyuka wa Gavana wa Bbanka enkulu,  Dr. Luis Kasekende olw’okukuza obulungi abaana abagasizza eggwanga mu ngeri ez’enjawulo

Obubaka bw’okusaasira buno, Ssaabasajja abutisse Katikkiro Charles Peter Mayiga abusomedde abakungubazi mu kuziika omugenzi okubadde ku kyalo Kiteezi mu mu Ggombolola ye Kawempe mu disitulikiti ye Wakiso ku Lwokusatu.

Mukwogerakwe kamalabyona Charles Peter Mayiga asoose kusoma bubaka bwa lukoma nantawetwa obusaasira ebenju yomugenzi era naatendereza omugenzi olw’okugunjula obulungi abaana be n’okubaagazisa ensi yabwe.

Ku lulwe Katikkiro ajjukiza abazadde okuteekateeka abaana babwe nga babasomesa, okubajjanjaba n’okubassaamu empisa z’obuntu bulamu kibayambe okubeera ab’omugaso.

Owek. Mayiga asinzidde wano naatongoza ekitabo ekyawandiikibwa omugenzi Benedicto Kakeeto Kasekende, taata wa owek Martin Sseremba Kasekende n’akubiriza abantu okusoma ebitabo kwossa okuwandiika okusobola okukuuma ebyafaayo.

Omukulu w’ekika ky’Omutima, Namugera Kakeeto asabye ab’enju ya Kasekende okutandikawo ensawo eyenjawulo egenderera okusomesa abaana abataliiko mwasirizi nga kabonero akasiima Katonda olw’okusuumuusa amaka gabwe era kiyambe n’okukuuma omukululo gwabwe.

 Kulw ‘ abaana Dr Louis Kasekende n’ Owek. Martin Sseremba Kasekende beebazizza abantu abababereddewo nebatendereza nyabwe olw’okubateekateeka obulungi mu mpisa n’eddiini.

Omukolo guno gwetabiddwako baminisita n’abeebitibwa okuva e Mmengo omubadde Minisita w’Ebyettaka, Daudi Mpangan’abalala wamu ne bannabyabufuzi omubadde; omubaka wa Kyadondo East ,Muwada Nkunyingi, Mmeeya w’ eggombolola ye Lubaga Mbeeraze Zacky Mawula nabakungubazi mu biti eby’enjawulo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist