
Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga alabudde gavumenti ku nteekateeka y’okuggyawo ekitongole ki Uganda Coffee Development Authority kubanga kino kikola kinene omulimu munene okutumbula ekirime ky’Emmwaanyi ekikyusizza ebyenfuna bya bannayuganda.
Okusaba kuno Katikkiro Mayiga akukoledde mu nsisinkano gyabaddemu n’abakulira ekitongole ki Uganda Coffee Development Authority (UCDA) e Bulange e Mmengo ku Lwokusatu ng’eno egendereddwamu okwekeneenya omukago gwekirina ne Buganda.
Owek. Mayiga agamba ekitongole ki UCDA kyetaaga kwongera nsimbi kisobole okutumbula emmwaanyi mu ggwanga, bannansi beegobeko obwavu ne gavumenti esobole okufuna ensimbi mu musolo.

Ono era akubiriza abantu ba kabaka okwongera omutindo ku Mmwaanyi zebalima zisobole okufuna akatale nanenya gavumenti olw’okulemererwa okukola obwakitunzi mu mawanga amalala okulaba nga emmwaanyi za Uganda zifuna akatale akeegasa.
Ow’omumbuga ateegezezza nti ekiseera kituuse abakyala n’abavubuka bajjumbire okulima emmwanyi kubanga bankizzo nnyo mu nkulakulana ye ggwanga n’olutalo lw’okugoba obwavu.
Ye Minisita w’Ebyobulimi n’obwegassi, Owek Hajji Amis Kakomo anyonyodde ekigendererwa ky’omukago gw’Obwakabaka ne UCDA nakakasa nti okulima emmwaanyi mu Buganda kweyongedde ebitundu 40 ku buli 100 ekitumbudde emirimu era waliwo essuubi ly’okugoba obwavu mi buganda.
Ate Ssenkulu w’ekitongole ekivunaanyizibwa ku Mmwanyi mu Ggwanga ki Uganda Coffee Development Authority, Dr. Emmanuel Lyamulemye yeebazizza Obwakabaka olw’okuddamu okuyitimusa ekirime ky’emmwaanyi ekyongedde okutumbula ebyenfuna by’eggwanga wabula nalabula abalimi b’emmwaanyi abasanyaawo ebibira.
Okwongera okunyikiza omukago guno aba Uganda Coffee Development Authority bawaddeyo ekikyuma ekikuba n’okufumba kkaawa eri Obwakabaka okuyigiriza abantu okunywa Kkaawa.










