
Bya Shafic Miiro
Bulange – Mmengo
Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone mu Bwakabaka, Owek. Robert Sserwanga asabye abakulembeze ba Nkobazambogo okulabikira mu nteekateeka zonna eziba zigunjiddwaawo mubitundu gyebawangaalira ku mitendera gyonna kiyambeko mukugumiza ekitiibwa ky’ekibiina kino.
Okwogera bino Minisita Sserwanga abadde aggalawo Ttabamiruka w’Abakulembeze ba Nkobazambogo olutudde ku Bulange ku Lwokutaano okulaba engeri ekibiina kino kyekisobola okugenda mu maaso n’okwekulaakulanya ng’ono abadde akubirizibwa Omw. Mukuye Gerald.
Ono asabye abavubuka okukomya okwebulakanya, era bave mu kwogera benyigire mu mirimu gy’Obwakabaka n’enteekateeka zonna ezigendereddwamu okuzza Buganda ku ntikko.
Wano era wayanjulidde obukulembeze bw’Abavubuka ku mitendera egy’enjawulo nga bwebwakola omwaka oguwedde.

Owek. Sserwanga asinzidde wano naabasaba okutandika okweteekateeka kuba wagenda kubaawo enteekateeka ya bannakibiina ki Nkobazambogo okutwala ettu mu Bwakabaka ng’eno egenda kutandika omwaka guno.
Owek. Dr.Rashid Lukwago Omukiise w’Abavubuka mu Olukiiko lwa Buganda abasabye okubeera ekyokulabirako ekirungi eri abantu abalala nokukuuma ekitiibwa kya Buganda mu mbeera zonna.
Ssentebe w’Abavubuka mu Buganda, Omuk. Ssejjengo Baker yeebazizza Ssaabasajja olw’okuteeka mu bavubuka obwesige n’abawa omulembe gwe bwatyo n’asaba abavubuka bonna mu Buganda obutekiriranya wabula okwogeza eddoboozi ery’awamu ku nsonga za Buganda efune omugabo gwaayo mu Buganda eyawamu.
Omuk. Ssejjengo yeebaziza ebibiina by’Abavubuka eby’enjawulo olw’emirimu egikoleddwa omwaka oguwedde n’abasaba omwaka guno bongeremu amaanyi.
Ssentebe wa Nkobazambogo mu Ggwanga, Mw. Kakeeto Hannington Sseremba yeebaziza Kabaka olw’okwagala Bannankobazambogo bwatyo n’asaba baakulembera obutaatirira Nnamulondo.
Kitegeerekese nti essaza Kyaggwe lye lisinze mu Masaza gonna mu kukola emirimu, Akeezimbira ky’ekibiina ekisinze, Makerere University yeesinze mu matendekero ate St. Janan S.S neesinga mu masomero ga Siniya.









