
Bya Shafic Miiro
Bulange – Mmengo
Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu era avunaanyizibwa ku bantu ba Beene abali ebweru, Owek. Joseph Balikuddembe Kawuki asabye abantu ba Buganda okukoma okwogera obwogezi naye bateeke mu nkola byeboogera okusobola okugenda mu maaso.
Owek. Kawuki bino abyogedde bw’abadde atikkula oluwalo lwa bukadde obusobye mu 10 okuva mu Ssaza lya Kabaka erya West Coast North America nga zino zeetikiddwa omubaka Patrick Nalikka Ssendegeya ow’Essaza lya West Coast North America ng’awerekeddwako Omuk. Robert Kajoba amyuka omubaka w’Essaza lya Mid Atlantic erikulirwa Omuky. Margaret Muwonge. Beetisse oluwalo lya dollar 2,800.
Minisita Kawuki yeebaziza nnyo Abaami ba Kabaka bano olw’okukola obulungi emirimu gya Nnyinimu gye yabakwasa, abasiimye olw’okukola obuteebalira ng’asinziira ku ddimu lyebakola okukwasizaako Obwakabaka okukola enzizi 2, okuli olw’e Bukomero olwawedde, n’olugenda okusimibwa e Buweekula. Kuno kwe bagasse n’okuleeta oluwalo, n’okulambika obukulembeze obulungi gye abawangaalira.

Kawuki bwatyo yeebaziza ababaka bano olw’okulumurirwa abantu be baleka kuno, nga banasakira emikisa egy’enjawulo bulijjo era agambye nti bino bijja okuyambako okuzza Buganda ku ntikko. Bwatyo akubirizza abantu ba Beene byonna bye boogera babiggye mu bigambo babisse mu nkola.
Ye Omubaka Patrick Nalikka Ssendegeya yeeyamye okukola kyonna okunyweza obumu mu bantu ba Beene basobole okulaakulanya Buganda ne Uganda.









