
Bya Ssemakula John
Katabi – Busiro
Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde taata w’omwogezi w’Obwakabaka mu Bungereza, Omukungu Albert Ssemwogerere, munnakibiina ki Democratic Party, Semwogerere Sulpsio Semakula eyavudde eyavudde mu bulamu bwensi gyebuvuddeko.
Mu bubaka bwa Katikkiro bwatise Owek. Joseph Kawuki nabusomera abakungubazi mu kitambiro kya mmisa ekiyindidde ku Mary Queen of Martyrs e Mpala .
Owek. Mayiga asaasidde abenju y’omugenzi era nasaba abantu okulabira ku mugenzi okusobola okuleka omukululo gw’abaana abalina ensa era abakozi.
Kamalabyonna era asiimye enkolagana ennungi omugenzi gyabadde nayo n’Obwakabaka bwa Buganda nasaba bamulekwa okwongera okuginyweeza.
Omubiri gwa Semwogerere Sulpsio Semakula gwasoose kusabirwa ku Ttawuni Kkanso ye Katabi gyeyaliko Kansala mu disitulikiti ye Wakiso okusiima olw’okuleeta ekiteeso ekifuula eggombolola.
Wano Mmeeya w’Eggombolola eno, Kalema Ronald Basammula Ekkere ngono emyaka gye egyobuto yakulira mu maka gomugenzi, kulwa kkanso asiimye emirimu emirungi Semwogerere gyeyakolera gombolola eno era olukiiko lwa kanso nga telwetemyeemu luyisiza ekiteeso ekyobbula erinnya lye mukisenge kya Kkanso ekiteesezebwamu.

Oluvanyuma omubiri gwomugenzi gugyiddwa ku kkanso negutwalibwa ku kigo kya Mary Queen of Matyrs e Mpala okugusabira ng’eno emmisa ekulembeddwamu Ssaabasumba Paul Ssemogerere.
Ssaabasumba Ssemogerere asabye abantu okukolerera amannya gabwe wamu nokutekateeka ezadde lwabwe obulungi ng’omugenzi bwakoze.
Kulwa bamulekwa, Omukungu Albert Ssemwogerere yeebazizza ababadukiridde mu kaseera kano akokusomozebwa,wamu nokusuubiza okunyweeza obumu mu baganda be.
Ye Sentebe wa disitulikiti ye Wakiso, Matia Lwanga Bwanika alaze okutya olw’abantu abomugaso abagenda bakendeera mu ggwanga ababade ekyokulabirako wamu nokuwabula emiti emito.
Eyaliko Minisita w’Abavubuka mu Buganda, Owek. Henry Sekabembe Kiberu asanyukide obwerufu bwomugenzi Semwogerere era nalaga akabi akolekedde eggwanga olwabantu abatakyalina nsonyi abaleetedde eggwanga okudda emabega.
Omukolo guno gwetabiddwako Owek. Joseph Kawuki, Owek. Noah Kiyimba,Owek. Henry Moses Sekabembe Kiberu, Owek. Charles Kiberu Kisiriiza, omuzaana Marion Nankya wamu nabalala.
Semwogerere Sulpsio Semakula afiiridde ku myaka 76 abadde Munnakibiina ki Democratic Party atakyuusibwakyuusibwa, atekwenyakwenya wamu nokubeera omusajja enjasa biggu era nga yafiridde mu gwanga lya Turkey gyeyali yatwalibwa nga atawanyizibwa ekirwadde kya Cancer.








