
Bya Ssemakula John
Lukuli – Kyaddondo
Omuweereza wa Kabaka ku BBS Terefayina, Ivan Vunye agattiddwa mu bufumbo obutukuvu ne Robina Nassaazi mu keleziya ya St. Denis Ssebuggwawo e Lukuli ku Lwomukaaga.
Bwanamukulu w’ekigo kye Kibiri, Rev. Fr. Augustine Bukenya yabagasse naabasaba okwesiga Katonda mu bufumbo bwabwe.
Bw’abadde yeetabye ku mukolo guno, Katikkiro yeebazizza Vunye olw’okunywerera ku mulimu okuva BBS lweyatandika okutuusa kati ate naakola emirimu mu bukakkamu, mu bugumiikiriza ate n’obwetoowaaze.

Owek. Mayiga asabye abakulembera ebitongole banyweze enkolagana n’abakozi kibayambe okutuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa era bakole emirimu nga bali kitole.
Ye Minisita w’Amawulire Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek. Israel Kazibwe Kitooke, yeebazizza Vunye olw’okusalawo agattibwe ne munne era abaagalizza obufumbo obulungi.
Bano abasabye buli omu okwesiga munne era baagalane okusobola okuwangaaza obufumbo bwabwe.










