
Bya Ssemakula John
Mukono – Kyaggwe
Omukulu w’Ekika ky’Empindi, Jjajja Mazige Robert Kitenda Mayanja akalaatide abazukkulu be okwenyigira mu nteeketeeka z’Ekika kyabwe kisobole okugenda mu maaso mu bintu eby’enjawulo naddala mu by’enkulaakulana.
Jjajja Mazige era abasabye n’obutasuulirira mirimu gya bwakabaka bwa Buganda kubanga y’ensibuko yabwe.
Okwogera bino Jjaja Mazige abadde ayogerako eri bazzukulu be ku mukolo gw’okumanyagana ye kennyini gw’akukulembeddemu nga gubadde ku kyalo Nabbale mu disitulikiti ye Mukono mu luggya lwa muzzukulu we, Marko Kyeswa Kitenda
Omutaka Mazige era asinzidde wano n’asaba bazukulu be okutuukiriza obuvunanizibwa bw’okusomesa abaana , okubagunjula babeere n’empisa ez’omu bantu n’okubalambika mu nnono n’obuwangwa bw’Abaganda kyagambye kijja kutwala Ekika ky’Empindi mu maaso ate nga ne Buganda bwedda ku ntikko.
Ye Omwami wa Kabaka amukulembererako Essaza lye Kyaggwe, Ssekiboobo Elijah Bogere Lubanga Mulembya nga naye muzukkulu mu kika kino asomoozezza banne okukuuma eby’obugagga bakadde babwe byebaabalekera nga bafudde baleme okutwalibwa ensimbi.
Omukolo guno gwatandise n’okusaba okwakulembeddwamu Ssaabadinkoni we Ngogwe e Mukono, Rev.Can. Paul Kigundi Kisala ng’ono yasanyukidde eky’abazukulu okukungaana era n’abasaba okugenda nakyo mu maaso









